Bya Moses Kizito Buule

ABAKULIRA ekisaawe kya Mandela National Stadium kyadaaki bamaze ne bakkiriza ekivvulu ky’omuyimbi Bobi Wine ekimanyiddwanga “KYARENGA CONCERT” okubaayo nga 9 ogw’ekkumi n’ogumu.

Mu bbaluwa gye bawandikidde akulira okutegeka ebivvulu bya Bobi Wine Emma Serugo era nga etereddwako omukono akulira ekisaawe kye Namboole Roland Kyalisiima elaze nti nga 9 omwezi ogujja teri kintu kyonna kiyinza kulemesa muyimbi omwatikirivu Bobi Wine kukola kivvulu kye mu kisaawe kino bwanaaba atuukirizza obukwakkulizo obumutereddwawo,

Omuli okusooka okufuna olukusa okuva ku Poliisi mu buwandiike era olukiiko olutwala ekisaawe lutegezebweko mu bwangu okusobola okukakasa ekivvulu.

Bobi Wine era asabiddwa okusasula ensimbi zonna mu buliwo obutasukka nga 29 omwezi guno bwe kimulema okukola ekivvulu kiba kijja kusazibwamu.

Ebbaluwa era elaze nti nga 16 omwezi ogujja Ttiimu ye Ggwanga ejja kubaayo n’omupiira kale nga abawagizi ba Bobi Wine tebagenda kukkirizibwa wansi mu muddo gwe Namboole kubanga bayinza okutataaganya omuddo nga babakkirizza kutuula oba okuyimirira mu kifo awalabirwa omupiira wokka.

Kinajjukirwa nti abakulira ekisaawe kye Namboole basooka ne bawandiika ebbaluwa wiiki ewedde nga bayimiriza ekivvulu kino, nga bekwasa nti mu nnaku z’omwezi omuyimbi Bobi Wine z’eyali asabye zaaliko omukolo gwe mbaga ne mikolo emilara.

 

 

 

 

 

 

 

 

Comments