Bya Moses Kizito Buule
OMUBAKA wa pulezidenti e  Mukono Nasser Munulo alabudde abantu bonna abasunsuddwa okugenda okutendekebwa okufuuka abakuuma ddembe ku byalo oba aba LDU nti tebagezako okubeera abawereza

babantu ssekinoomu naddala banabyabufuuzi.

Munulo agamba nti abantu bano abamu baletebwa banabyabufuuzi, era nga baagala olumala okusunsulwa n’okutendekebwa bakomewo batuukirize ebigendererwa by’abanabyabufuuzi kyagamba nti kikyamu era tebakigezako kubanga balina kuwereza bannaUganda bonna awamu.

Bano era abalabudde nti bagenda kubeera bafugibwa mateeka ga ggwanga agalagira okuwereza bannaNsi awatali kusosola era nabagamba nti bubakeredde kubanga bakuvunanibwa singa bagezako okukolera
banabyabufuuzi mukunyigiriza abalala.

Abamu ku baayise ebigezo okwegatta ku Ggye ekkuuma byalo.

Okw’ogera bino yabadde asibula abavubuka abalenzi abasobye mu 150 saako n’abawala 2 abayise ebigezo by’okutendekebwa mu ggye ekkuuma byalo (LDU) mukono.
Ye ssentebe wa district ye Mukono Andrew Ssenyonga akutidde abo banaba bamaze okutendekebwa okubeera abesigwa saako n’okwewala okubeera n’engalo empavu okusobola okukuma ekifananyi kye Ggwanga

.

Comments