Bya Moses Kizito Buule

OMUYIMBI Sheebah Kalungi atabukidde abantu abamukaka okufumbirwa nagamba nti bamuleke kuba akyalina eny’okukola bingi ate ebisingako ku kufumbirwa.

“Banange nkooye abamanja omusajja nze saagala kufumbirwa yadde omusajja mu kiseera kino kuba saagalira ddala bintu binnumya mutwe ate era nkyalina bye nina okukola omusajja bwalijja mwenna mulimanya” Sheebah bwe yagambye.

Okwogera bino yabadde ku pulogulamu emu ku Ttivvi omu ku bakubi ba masimu bwe yawerezza obubaka nga abuuza omuyimbi Sheeba lwaki tafumbirwa yadde okuzaala ngaate emyaka gilabika nga egimugendako.

Mu kwanukula yagambye nti ye akyali muto nnyo nga ku myaka 29 gy’alina talaba kimupapya ekiseera kijja kutuuka buli kimu kiggwe era abamubuuza ebigambo bibaggwe ku matama.

Ku kye nyambala ye yekokkodde bannaUganda okumwogerangako nga bwayambala obubi, wano nababuuza nti baagala nnyo abayimbi abazungu era babasuuta nnyo songa bebasinga okwambala obubi.

“Wano Omuyimbi Beyonce n’abawala ba Spice Girls bemuwaana ani abasinga okwambala obubi? mulyooke mumpalarire nti nze nsinga okwambala engoye ennyimpi ate nazo sijja kuzilekayo kubanga ky’afuuka kitundu kunze.” Sheebah bwe yayongeddeko.

Comments