OMUSUMBA we kkanisa ya Mt Lebanon Christian Center Church -Mukono Samuel Lwandasa avuddeyo n’asaba banna Uganda n’abakkiriza ba kristo okukozesa amazuukira okw’ekuba mu mutima nga bewala ebikolwa ebye kko saako n’okusonyiwagana.
Bino byabadde mu bubaka bwe obwa mazuukira mu kusaba ku kkanisa esangimbwa ku kyalo Ggunga okw’etambiddwamu n’amungi w’abakkiriza,
Lwandasa yategezezza nti ebikolwa by’okuyiwa omusaayi n’okutwalira amateeka mu ngalo ennaku zino bifuuse baana baliwo nga bisanye okukomezebwa.
Yanyonyodde nti singa omuntu abeera afunye obutakanya ne munne kibeera kirungi okumusonyiwa mu kifo ky’okumuggya mu bulamu bwensi nti kuba kino ssi kye kisebaayo, bwatyo era n’akkatiriza nti mu bikujjuko bino ebya’mazuukira abantu basanye okwewala okuyiwa omusaayi saako n’okutamirukuka kye yagambye nti tekiweesa mukama kitiibwa
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com