Bya Moses Kizito Buule

ENTIISA ebutikidde abatuuze ku kyalo kya Central Nabuti ekisangimbwa mu kibuga Mukono, mutuuze munabwe bw’affiridde mu buliri ekibwatukira.

Omugenzi ategerekese nga Martin Masinde ng’abadde Musumba wa kkanisa ya Victory Family Church esangimbwa mu kitundu kino era nga yavuganyako ne  ku kifo ky’obwa Ssentebe bwe kyalo kino mu kulonda okwakaggwa, nga yabadde amyuka ssabawandiisi mu kibiina ekitaba Abasumba mu Greater Mukono ekya Love Peace and Unity Pastor’s Destiny Forum.

Omugenzi lwe bamutikira okubeera omusumba

Namwandu Diana Masinde agamba nti basuze ku Salt T.V nga basaba era ye oluvanyuma n’aleka bba mu ddiiro nagenda yeebaka, wabula ku ssawa kumi n’emu ng’abukya enkuba bw’eyatandiise okutonnya omugenzi kw’ekuzukuka n’atekaayo eppipa wabweru  wabula yamutegezza nga bw’atebase bulungi olw’okuba nti abadde
alumizibwa mu kifuba era olwo naddayo mu buliri  ne yebaka.

Abasumba nga bagumya Namwandu n’omu ku bamulekwa ow’emyaka ebbiri gwaleese.

Namwandu yayogeddeko nti bwezaweze essawa kkuumi n’abbiri kwe kuzukuka okugenda mu ddiro okusaba  naye eky’amujje enviri ku mutwe bwe yagenze okubaako by’amutegeza omubadde n’amuyita nga tamuwuuna olwo kwekumukwatako n’akizuula nti yabadde yaffudde dda.

Omusumba Martin Masinde bweyali abuuza ku minisita Nanduli ku mikolo gya basumba e Lugazi omwaka oguwedde ku kisawe kya Metha.

Ye omuyima w’ekibiina ekitaba abalokole mu bendobendo lye Mukono Samuel Lwandasa ategezezza ng’amawulire g’okufa kw’omusumba munaabwe  bwe bagafunye ku mankya era n’ebasalawo okuddukira poliisi e Mukono, bwe
yazze omulambo ne gutwala mu ddwaliro e Mulago okwekebejjebwa.

Ekanisa ya Victory Family Church omugenzi gyabadde asumba e Nabuti.

 

Comments