Bya musasi waffe

Omuloodi wa Kampala Erias Lukwago awadde Kyabazinga wa Busoga amagezi ga bwereere.

“Tokiriza mulimu gwa Museveni”, Loodi Meeya weyawandiise ku mukutu gwa fesibuuku.

Lukwago yawandiise ng’agamba nti mubuwombeefu asaba Kyabazinga azire omulimu gwobwambasada ogwamuwereddwa pulezidenti Museveni ku Mande.

Ezimu ku nsonga zawadde kwekuli;’okumenya konsitusoni ye ggwanga egaana abakulembeze be nnono okukola emirimu ejekuusa ku byobufuzi.

Lukwago yagaseeko nti ofiisi ya ambasada akola emirimu egyawano newali mu ofiisi ya pulezidenti, kiwaani era teriiyo.

Lukwago era yewunyiza sipiika Kadaga omusoga bwanabuuza kyabazinga ebibuuzo okusobola okumukakasa nga kwotadde kyabazinga omulamba okuba n’omulimu gwa abakopi nga Mohammed Kezaala ne ambasada Kibedi Wanume.
Awo weyavudde nagamva nti, okifo ekyo Kyabazinga yandikyesonyiye.

Comments