Ebibiina 4 ebiri kuludda oluvuganya nga bikulembeddwamu National economic empowerment dialogue NEED ekikulemberwa Joseph Kabuleta bikoze omukago ogutumiddwa Holly Alliance, okutakabanira enkyukakyuka ey’emirembe,enfuga ya FEDERO, enfuga entambulira ku mateeka saako ensonga endala.
Bano bagamba bakukolera wamu okuteeka Gavumenti ya NRM ku bunkenke okutuusa nga e Ggwanga lifunye enkyukakyuka awatali kuyiwa musaayi.
Kino kiddiridde banna FDC nabo okulangirira nga bwe bagenda okutandikawo ekibiina ky’ebyofuzi eky’etongodde, saako okutongoza ekisinde ekikolagana n’ekibiina ki NUP ekimanyiddwa nga United Forces of Change,
Ebibiina ebirala ebiri ku ludda oluvuganya Gavumenti , okuli NEED ,JEEMA,SDP ne CP nabyo bikoze omukago ogutumiddwa Holly Alliance mwebigenda okugattira amaanyi n’okwanjulirira bannaUganda enkola empya eyokuleeta enkyukakyuka mu Ggwanga awatali kuyiwa musaayi.
Bano bagamba nti essira bakulissa ku kusaawo enkola ennungamu ezirambika oludda oluvuganya nga bwe lulina okutambuza ensonga z’eGgwanga n’okulaba nti ensonga zonna ezigulubya bannaNsi emitwe zisosowazibwa saako n’okulwanirira enfuga ya FEDERO era Joseph Kizza Kabuleta ne banne baaweze okuteeka akazito ku Gavumenti eri mu buyinza okutuusa nga bafunye enkyukakyuka.
Banabyabufuzi bano okubadde,Joseph Kabuleta owa NEED, Asuman Basalirwa owa JEEMA , Lubowa Henry owa SDP, Kenny lukyamuzi owa CP saako abalala okuva mu bisinde eby’enjawulo nga Samuel Lubega Mukaaku owa Truth and Justice, bagamba nti ekiseera kituuse okw’etegekera Uganda empya nti kuba obukulembeze bwa pulezidenti Museveni ne kibiina kya NRM akadde konna bukukyusibwa.
Omukago guno era gutunulidde engabanya ye by’obuggagga bye Ggwanga gye bilina okubigabanyizibwa, enfuga ey’amateeka n’obwenkanya n’ensonga endala.
Joseph kabuleta akulira NEED yakakasizza nti omukago guno tegugendereddwamu kulwanyisa bibbiina bwebali kuludda oluvuganya wabula okugatta amaanyi naabo bebakaanya nabo kunsonga ez’enjawulo.
Kyokka ye akulira JEEMA Asuman Basalirwa yalabudde bannabyabufuzi abavaayo okulumba omukago guno, nagamba nti balina kukkwatira wamu kubanga bonna ekigendererwa balina kimu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com