ABAKULIRA offiisi ya Ssentebe we kibiina kya NRM ONC mu Greater Mukono beetabye mu misinde gy’amazaalibwa ga Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II egibadde egibadde ku Gombolola ya Mituba 4 Kauga mu Ssaza lye Kyaggwe.
Emisinde gino gisimbuddwa Musajja wa Kabaka atwala e Gombolola eno Charles Matovu era nga abakulembeze ab’enjawulo bajetabyemu.
Offiisi ya sentebe we kibiina kya NRM mu Greater Mukono ekiikiriddwa Nasuuna Julie, Mulamira Gashegu, Semuddu Ivan nabalala bangi.
Bwabadde ayogerako ne bannamawulire Ivan Semuddu agambye nti nag ONC nabo babadde tebasobola kusigala bbali nga Kabaka wa Buganda ajaguza amazaalibwa ge ag’emyaka 68.
Agambye nti nga offiisi baalagiddwa omuyambi wa Pulezidenti Hajjat Hadijjah Namyalo okwetaba mu ntekateeka ye misinde mubuna byalo olw’ekigendererwa Kabaka Mutebi ne Pulezidenti Museveni kye baliko eky’okulwanyisa obulwadde bwa mukenenya.
Julie Nasuuna ayozayozezza Ssabasajja Ronald Muwenda Mutebi okutuuka ku mazaalibwa ge ag’emyaka 68, nasaba abantu okwekebeza obulwadde bwa mukenenya nabali ku ddagala okulikozesa obulungi
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com