ABAVANDIMWE ab’egattira mu kibiina kyabwe ki Council For the Bavandimwe bagamba nti bawadde omubaka we Ssaza lye Kakuuto Geofrey Lutaaya ennaku 7 ab’etondere olw’ebigambo bye yayogera ku mukolo ogumu mu bitundu kye Kkooki bye bagamba nti byali bisiga obukyayi nga kwotadde n’okusosola mu mawanga.
Ebimu ku bigambo omubaka Lutaaya bye yayogera mwalimu okukunga abantu be Kkooki bakole nga ab’eKakuuto bwe baakola ne batalonda yadde wa NRM nga alumiriza nti Abavandimwe kye kibiina kye bawagira nti era bonna beetaaga kusuula buli we beesimbye mu kifo ky’obukulembeze.
Yagamba mu katambi akafulumira ku mikutu emigatta bantu nti emirimu mu Gavumenti gyonna gitwalibwa bavandimwe abawagizi ba NRM era naabaako nakabinja ka Bavandimwe ke yasongamu olunwe nakunga abantu abaali bakungaanye nti babalwanyise, Abavandimwe kye bagamba nti kyabayisa bubi nga baagala omubaka Lutaaya yetonde oba ssi kyekyo bagenda kumusimbako omuntu oba okumutwala mu mbuga z’amateeka.
Paul Ntale akulira ekitongole kya bavubuka mu kibiina kyabwe agamba nti ebigambo by’omubaka Lutaaya byabasiikuula emeeme nti kubanga bazadde baabwe baazalibwa mu Uganda era nabo ne babazaalira wano nga mu mbeera eyo baba balina okuyisibwa kyenkanyi ne bannaUganda abalala awatali kusosolebwa.
“Tetulina mutawaana gwonna na Hon. Lutaaya naye twagala atwetondere mu nnaku 7 bwe kiba nga ddala teyalina kigendererwa kikyamu kyonna ku bantu baffe, mu kiseera kino tukyebuuza ku bannamateeka baffe okulaba kiki kye tuzaako bwe tunakizuula nti waliwo omusango tujja kugumuggulako tumuvunaane mu mbuga za mateeka” Ntale bwe yagambye.
Mu kiseera kino tuli mu nteekateka okulaba muntu ki gwe tugenda okumusimbako tumuwe naffe obuwagizi nga abantu baffe bwe baabuwa Lutaaya nga ajja mu bukulembeze kubanga tetwatunulira mawanga mu kiseera ekyo” Ntale bwe yayongeddeko.
Omubaka Lutaaya bwe yatuukiriddwa ku ssimu yategezezza nti talina kigendererwa kyonna kya kusosola mu mawanga nti kubanga abantu ab’eyita abavandimwe bangi basembezebwa mu maka ga kitaawe ne bakulilayo saako n’abaana baabwe.
“Baganda bange abo sibalinaako mutawana gwonna era ndi mwetegefu okubasisinkana twogerezeganye ensonga eyo tugimalirize” Lutaaya bwe yagambye.
Kigambibwa nti ekitundu kye kakuuto kilimu abanyarwanda ab’eyita abavandimwe ebitundu 60 ku buli 100.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com