ABATEGESI b’omwoleso ogubeerawo buli mwaka ogumanyiddwa nga Mukono Street Business Festival bagamba nti tewali kigenda kubalemesa kusanyusa bannaUganda saako ne bannaMukono okutwalira awamu okusinziira nga bwe bategese omwoleso gw’omulundi guno.
Brian Mpiima ono nga yakulira ekitongole ekitegeka ebivvulu ekimanyiddwa nga Media Seventy Seven agamba nti omwaka ogwaggwa baategeka ne bitambula bulungi nti naye ate omwaka guno kigenda kusukka okusinziira engeri gye bagenda okukunga bannamakolero, abamassomero, ab’amadduuka, ebitongole by’obwannakyewa ne bilala.
Okwogera bino baabadde ku mukolo gw’okuteeka emikono ku ndagaano n’abategesi abalala abakulembeddwamu Richard Kateregga Mivule nga omu ku kawefube w’okulaba nga bakolera wamu n’abavubuka okulaba nga bannaMukono ne bannaUganda bonna banyumirwa omwoleso.
Mpiima yakowodde bonna abaagala okufuna emidaala saako n’amakkampuni agandyagadde okulangira mu mwoleso guno okutuukirira abategesi okusobola okufuna ebifo by’okumwanjo saako n’okulaga abantu eby’amaguzi byabwe.
“Mutuukirire mwami Kateregga ne banne baagenda okukola nabo, muwebwe ebiwandiiko byonna ebyetaagisa okufuna emidaala mu budde, tusobole okukola enteekateka ennungi” Mpiima bwe yagambye.
Ye Kateregga Mivule nga yakulembeddemu abategesi yategezezza nti bamaze okutuukirira abagenda okwolesa omuli amakkamuni, amassomero ne bitongole era nga bangi bamaze okukakasa okwenyigira obuterevu mu mwoleso guno.
Yanyonyodde nti abayimbi n’abatunda eby’okuywa bonna kuluno tebagenda kulutumira mwana era nga abasing bamaze okukakasa nga bwe bagenda okugwetabamu.
Omwoleso guno gugenda kumala ennaku 5 okuva nga 5 ogw’okuna okutuusizza ddala nga 10 ku mazuukira ga Yesu kristo, nga gugenda kuyindira mu makubo gonna okwetoloola ekitebe kya Disitulikiti ye Muikono
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com