ABAKULEMBEZE ab’ekiwayi kya NUP abakalondebwa gye buvuddeko balabudde ab’eyita abawagizi be kibiina ab’efunyiridde okuvuma n’okukola effujjo ku bantu nga beerimbise mu kibiina nti kakubajjutuka.
Paul Simbwa Kagombe ono nga ye Ssabawandiisi omuggya agamba nti okuva lwe baasembeza ekiwayi kya Robert Kyagulanyi Ssentamu era naakwatira ne kibiina bendera ku kifo ky’obwaPulezidenti mu kulonda okwayita abamu ku bawagizi be kibiina baatandika okusiiwuka empisa ne batanula okuvuma buli alabika nga awakanya omuntu waabwe.
Kagombe agamba nti bino mu bukulembeze obuggya tebagenda kubikkiriza nti kubanga eno ssi nkola ya kibiina kya NUP oba abakulembeze baakyo.
“Ensonga yabantu ab’olubatu ab’efunyiridde okutyoboola, okukola effujjo ely’abuli kika n’okuvuma buli munnaUganda atakkiririza mu kibiina kya NUP tegenda kukkirizibwa mu bukulembeze bwaffe.
Abantu bangi bavumiddwa ebigambo ebitayisika mu kamwa songa abamu bambi n’ababitiibwa, eno ekifananyi ne kisiigibwa nti bawagizi ba NUP ekintu ekitukola obubi nga abakulembeze era abatandisi be kibiina” Kagombe bwe yagambye.
Yanyonyodde nti abakola bino bwe bateddako omukono omuwanvu ogwamateeka gugenda kubalondoola bakwatibwe era bavunanibwe mu mbuga za mateeka.
” Ekibiina kyaffe kikulembeza nnyo empisa era ssi nkola yaffe okuvuma n’okutyoboola abantu naddala bakulembeze bannaffe, ebikolwa ebyo nkiddamu tetugenda kubikkiriza” Kagombe bwe yayongeddeko
Wiiki ewedde ekiwayi kya NUP ekikulemberwa musajja mukulu Nkonge Kibalama kyatuuza olukiiko Ttabamiruka mu bitundu bye Mukono era obutesalamu bonna ne basalawo okukyusa abadde Ssekaggale we kibiina kino Robert Kyagulanyi Ssentamu n’awebwa omulinu gw’okukiikirira ekibiina ebweru we Ggwanga, ye abadde Ssabawandiisi we kibiina Lewis Rubongoya n’asikizibwa Paul Simbwa Kagombe ate abadde omwogezi we kibiina Joel Senyonyi n’asikizibwa Gideon Tugume.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com