EYALI Minisita wa bakozi Herbert kyadaaki omusango gw’okulya enguzi ogubadde gumaze ebbanga eddene nga gumuvunanibwa gumusse mu vvi.
Ono alagiddwa okusasula ensimbi za Uganda obukadde 10 oba okusibwa mu kkomera okumala emyaka 3.
Kabafunzaki ne banne abalala 2 babadde bavunanibwa omusango gw’okufuna ensimbi obukadde 5 nga enguzi okuva mu mugagga w’omuKampala era nga ye nanyini Woteeri emanyiddwanga AYA Hamid Mohammad Mohammad.
Omulamuzi Margaret Tibulya abadde mu mitambo gy’omusango guno yagusingisizza Kabafunzaki.
Kigambibwa nti nga ennaku z’omwezi 8, 04, 2017 nga akola emirimu gye nga Minisita wa Bakozi, Kabafunzaki yasaba omugagga Mohammad ensimbi obukadde 15 nga asinziira ku Woteeri ya Serena, zaagamba nti zaali zakumuyamba okulongoosa elinnya lye okuva ku musango gw’obuliisa maanyi ogwali gumuwawabiddwa omu ku bakozi be.
Oludda oluwaabi era lwalaga nti Kabafunzaki yagenda mu maaso nakwata ensimbi obukadde 5 okuva ku Mohammad ezaali zisooka oluvanyuma amaleyo, nga wano Mohammad we yasalilawo okutemya ku beby’okwerinda ne batega Minisita ensimbi oluvanyuma ne bamukwata nga ali ne kizibiti mu wooteri ya Serena.
Ono amangu ddala mukamawe Pulezidenti Museveni yamuwummuza okuva ku mulimu gw’obwaMinisita era n’alagira okumunoonyerezaako kutandikirewo.
Okuva mu 2017 ono abadde awerenemba n’omusango guno okutuusa olwaleero bwegumusingisiddwa.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com