MUNNAMAGGYE Wasswa Kasirye Ggwanga yegaanye ebigambibwa nti amaggye gamusazeeko mu kibira ne gamukwata ku biragiro by’omudumizi Gen. Davi Muhoozi.
Agambye nti bino tebiriiyo kubanga teri muntu yenna kaabe mukama we Pulezidenti Museveni asobola kumugaana kulwanyisa kusanyaawo butonde bwansi.
“Ennaku zino Kabaka ne Pulezidenti bagamba okukuuma obutonde bwe Nsi era ababusanyaawo tebagalira ddala kubawuliza, kati nze Kasirye nkole ki? kye nkola nabo kye baagala era emirimu gyange mmanyi bagisiima, nga nkyali mulamu teri ajja kutema miti mu ttaka lya Gavumenti agende atyo, era emmotoka luli mbadde nzikuba mipiira ne zituula kati ngenda kuzookya bwokya zisanewo” Ggwanga bwe yategezezza omusasi wa watchdog ku ssimu.
Yagambye nti kati amakadda agatadde mu Ggombolola ye Maanyi mu Mityana gyagamba nti eno yayitiddwa abataka baayo nga balaba emiti gisanawo ate nga nabagitema tebabamanyiiko yadde mu kitundu kyabwe.
Agamba nti emu ku nsonga esinze okuleeta obuzibu kye kitongole kye bibira okugabira ettaka lye bibira abantu abatali ba mubitundu omuli ebibira bya Gavumenti kyagamba nti kireetawo obutali bumativu wakati wa bafunye ettaka n’abatuuze.
“Ekisooka abantu bano baafuna ettaka ku busente butono nnyo nga akamu ku bukwakulizo kwali kusimbako miti bazzeewo ebibira ebyaliwo, era nga baalina okulimiramu emmere evaamu amangu nga kasooli ne bijanjalo, emiti we gikula balina okugileka giberewo nga ekibira bwe kyali, naye banaffe abo ate bagenda mu maaso ne bagisala nga bagiyita egyabwe, ntegeeza bannaUganda mwenna nti teri muntu alina buyinza ku miti egyasimbibwa mu ttaka lye bibira bya Gavumenti, emiti gya Gavumenti era kinkakatako nga munnamaggye we Ggwanga okukuuma emiti n’obutonde bwe Ggwanga lyange” Kasirye bwe yayongeddeko.
Yalayidde obutava mu bibira okutuusa nga ababitema bavuddeyo, era nagamba nti agenda na kukwata abakulembeze abawagira abantu okusala emiti n’okwokya amanda nga babitaddemu eby’obufuzi.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com