Minista Muyingo agamba, Abantu abaatagala kukolera wamu beebaleese obwavu mu Ggwanga, n’olwekyo kye kiseera baveeyo b’egatte mu bibiina by’obwegassi olw’o Gavumenti nayo bw’egenda okubakwatirako okusinga okwenyigira mu bintu ebitagasa n’okutuula nga tebakola.
Obubaka buno Minista omubeezi ow’amatendekero agawaggulu mu Ggwanga, Hon Dr John Chresytom Muyingo aby’ogeredde Vvumba mu Town Council ye e’Busika mu District ye Luweero ku mukolo ogw’okuwa abakadde ettulya lya mazuukira,okuwa abavubuka Kasooli w’okusimba awamu n’okugabira abavubuka piki piki za Ttukutuku satu abegattira mu kibiina kya Zirobwe Kalagala multipurpose.
Abavubuka bano abeegattira mu kibiina kya Zirobwe Kalagala Multipurpose Youth Coorperative Society Limited nga bakulembeddwa omuwandiisi waabwe banjulidde Minista Muyingo okusoomooza kwe basanze naddala abaamu ku baleeta eby’obufuzi munkulaakulana ,eby’entambula ,tebalina kifo ,abaamu tebagala kutereka.
Ono yasoose kuyozayoza bantu be Bamunanika okufuna Omulabirizi w’eLuwero ow’okusatu kubanga waabwe ddala era nasuubiza okubeera munteekateeka zonna ez’okumutuza era nategeeza nti Abantu abatagala kukolera awamu bebaleese obwavu mu Ggwanga n’olwekyo kye kiseera baveeyo beegatte mu bibina by’obwegasi olw’o Gavumenti nayo wegenda okubakwatirako okusinga okwenyigira mubintu ebitagasa n’okutuula nga tebakola.
Mu ngeri y’emu Minista Muyingo yagenze mu maaso n’ajjukiza bannansi okwongera okubeera n’omutima ogwa bulungi bwa bwansi okusobola okwagazisa abalala okweyagalira mu Gwanga n’okuyamba abali mubwetaavu ate n’okusobola okuzukirira wamu ne Yesu Kristo.
Mukwogerako n’abakadde abafunye ettu lya mazuukira beebazizza nnyo Minista Muyingo ne bamusabira emikisa Mukama ayongere okumukuuma n’okumuwangaaza kubanga abalabirira bulungi.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com