Abavubuka abamanyiddwa nga Bazzukulu ba Museveni okuva mu offiisi ye esangibwa e Kyambogo ONC, bavudde mu mbeera ne balumba omutegesi we bivvulu Balam Balugahare gwe bagamba nti ono asusizza okutyoboola omukulembeze waabwe Hajjat Hadijja Namyalo.
Bano nga basinziira ku mikutu emigatta bantu egy’enjawulo bagamba nti tebagenda kutunula butunuzi nga Balam eyeyita omu ku bakunzi ba Gen. Muhoozi agenda mu maaso n’okuyisa amaaso mu bakulembeze ba offiisi ya Ssentebe we kibiina kya NRM esangibwa e Kyambogo omuli agikulira Hajjat Namyalo saako n’akulira ebyamawulire Hajji Ibrahim Kitatta.
“ Balam ffe tetukugaana kuwagira Gen. Muhoozi wo kubanga naffe tetubayingirira mu bye mukola, naye ssinga gwe nakakundi kammwe munagenda mu maaso ne mulumba abakulembeze baffe tetujja kutuula.
Okuvuma n’okutyoboola tukumanyi naye tetwagala kugenda mu mbeera eyo ye nsonga lwaki tusoose kukola kulabula osobola okweddako nga omusajja omukulu okole byolina okukola.
Ffenna tuli bannaUganda era abawagizi ba NRM tetulaba kitulwanya wabula tubalabula okukomya ebigambo ebigendererwa okukkakanya offiisi ya ONC n’abagikulembera” Hakim Kyesswa akulira abazzukulu abavunanyizibwa ku byamawulire bwe yagambye.
Kino kiddiridde Pulezidenti Museveni era nga ye Ssentebe we kibiina kya NRM okuyungula ekibinja kya bazzukulu 180 okwetoloola e Ggwanga lyonna, nga bano be bagenda okumuyambako okulondoola emirimu egiteekebwamu ensimbi Gavumenti saako n’okulwanyisa obulyi bwe nguzi byagamba nti bye bivuddeko okuzza e Ggwanga emabega.
Bwe yali asindika abazzukulu okukola emirimu Hajjati Namyalo yabasaba okubeera abesimbu, abamazima nga bawereza abantu, okuwuliriza, okwewala okulya enguzi ne bilala basobole okutuukiriza ebigendererwa by’omukulembeze we Ggwanga.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com