OLUNAKU lw’okubiri enjuba enagenda okugwa nga Obulabirizi bwe Mukono bumaze okufuna omulabirizi omuggya.
Gye buvuddeko omulabiri w’obulabirizi bwe Mukono aliko Rt. Rev. James Williams Ssebaggala yawummula emirimu gye gyawerezza obulabirizi okumala emyaka egisoba mu 13.
Ono akoze emirimu egy’enkulakulana mu bulabirizi miyitirivu naye nga bwe b aalugera nti awalungi tewaba wammwe ekiseera kyatuuse nawummula emirimu mu butongole.
Mu lusilika lwa Balabirizi bonna ab’ekkanisa ya Uganda olugenda mu maaso mu bitundu bye Lweza mu Wakiso mu kiseera kino, nga lukubirizibwa Ssabalabirizi Rt. Rev. Stephen Kaziimba Mugalu omulimu gw’okulonda omulabirizi we Mukono mwe kugenda okubeera olunaku lw’okubiri.
Mu mannya agaamaze edda okusunsulibwa akakiiko k’obulabirizi akakola ku kusunsula abo abasanidde okuba abalabirizi mulimu Rev. Enosi Kitto Kagodo ne Rev Godfrey Sengendo nga ku bano kwe kugenda okulondebwako omu anadda mu bigere by’omulabirizi Ssebaggala eyawumula.
Rev. Enos Kagodo yoomu ku bawereza mu kkanisa abamaze ebbanga eddene nga awereza mu bifo eby’enjawulo era nga mu kiseera kino ye Dean wa lutikko y’abatukuvu Phillipo ne Andereya ey’obulabirizi bwe Mukono.
Rev. Godfrey Sengendo nga mu kiseera kino ye Ssabadiikoni w’obusabadiikoni bwe Nasuuti mu Mukono naye atunuliddwa nnyo okutwala ekifo kino, nga kati kisigalidde eri balonzi abalina olukusa okulonda mu mateeka agafuga ekkanisa ya Uganda okulondako omu ku bo.
Omulabirizi Sebaggala abadde akyogera lunye nti Katonda yalonda abakulembeze be kkanisa era gyabadde ayita yonna nga asiibula abakulisitaayo nga abasaba okusaba ennyo Katonda abalondere omulabirizi omulungi.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com