OMUBAKA omukyala owa Disitulikiti ye Sembabule Mary Begumisa alaze obwetaavu bw’okukyusa langi ya kyenvu eyambalwa abasibe mu makkomera gy’agamba nti elina ekifananyi ekitali kilungi kyelaga eri ekibiina ekiri mu buyinza ekya NRM.
Begumisa agamba nti atera okukyalira ku basibe mu makkomera saako n’okubaako emirimu egy’abulijjo gyakola nabo nti kyokka buli lwatunuulira engoye ze baba bambadde alabira ddala abawagizi ba NRM abawedde emirimu kyokka nga abamu ku bbo baba bazzi ba misango egy’annaggomola.
“Ekyo tekikoma ku nze nga omuntu wabula n’abaana mu bitundu gye tuwangaalira nabo bwe balaba abasibe nga babayitako babayita ba NRM, nga kino kitwalira abantu obudde bungi okubannyonyola nti basibe ssi bawagizi ba kibiina” Begumisa bwe yagambye.
Okwogera bino yasinzidde mu lukiiko lwa bannamawulire lwe yatuuzizza mu makaage agasangibwa e Lubowa mu Wakiso ku lw’omukaaga, nga atangaaza ku nsonga eno oluvanyuma lw’okugiteeka ku mukutu gwe ogwa Twitter.
Kino kyaddiridde ku lw’okutaano abakulira amakkomera okuyitibwa mu kakiiko akalondoola ensimbi y’omuwi w’omusolo mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu (PAC) omubaka Begumisa kwatuula, n’abategeeza nti ssinga kisoboka bakyuse langi eyefananyiriza ey’ekibiina kyalimu nga memba ki NRM kubanga elina engeri gyelaga mu ekifananyi ekitali kilungi mu bantu saako n’abalambuzi.
“Banange NRM ssi kibiina kya bazzi ba misango abamakkomera betaaga okukyusa engoye ezambalwa abasibe, naye ngenda kukola kyonna ekyetaagisa ne bwe kinaaba kyetaaga kutwala nga ekiteeso mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu nja kukikola okusobola okutaasa ekifananyi kye kibiina kyange kye mpagira.
Nategezeddwa nti waliwo emitendera egiyitibwamu okukyusa langi ze ngoye z’amakkomera kubanga zateekebwa mu mateeka agafuga amakkomera saako ne mu Ssemateeka we Ggwanga nga kyetaagisa okugawandukulula tufune elangi endala n’oluvanyuma ewandiisibwe awo elyoke ekyuke kye tugenda okukola ne babaka banange abamaze okukikkiriza.
Era namaze dda okwogera n’omwogezi wa kabondo ke kibiina mu Palimenti Hon. Kintu Brandon ne tukkiriziganya kawefube ono gwe natandise agende mu maaso” Begumisa bwe yagambye.
Omwogezi wa makkomera Frank Baine bwatuukiriddwa ku nsonga eno agambye nti tewali bbo kye bayinza kugaana kubanga amateeka agafuga amakkommera we gali era gaakolwa Palimenti, nagamba nti bakama baabwe ababaka bwe bakeera ku makya ne bajjawo langi ya kyenvu nabo bajja kugenda mu maaso neeyo enaaba ebawereddwa.
Engoye ezambalwa abasibe eza kyenvu olumu zibadde zifuuka ekivume eri abawagizi n’abakulembeze be kibiina kya NRM, nga abali ku ludda oluvuganya bakibateekako nti bazzi ba misango olw’okugabana engoye n’abasibe
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com