Omukulembeze we kibiina kya Democratic Party DP era nga ye Minisita avunanyizibwa ku kitongole ekilamuzi ne Ssemateeka Norbert Mao abotodde ebyama n’ategeeza nga buli mukulembeze ow’okuntikko mu kibiina bwamanyi obuterevu buli nsonga yonna eri mu ndagaano ekibiina kya DP gye kyatuukako ne kinaakyo ekya NRM.
Mao agamba nti abamu ku bakulembeze n’abamu ku babaka ba palimenti guno bagufudde muze okwegaana endagaano ate nga bagimanyi bulungi, kyagamba nti abamu kubo baagala kufuuka balabe ba kibiina.
“Abamu mutandise okukola emputtu n’okwagala okusanyawo ekibiina naye mubuuzeeko ku basooka okwagala okukikola ludda wa gye bali? DP kakonge ka ku kkubo nkiddamu tewali asobola kugisanyawo okujjako okwerimba.
Ate bonna tubalaba era tujja kubagolola ettumba nga amateeka ge kibiina bwe gagamba, tetujja kubagumikiriza” Mao bwe yagambye.
Okwogera bino yabadde mu lukiiko lwa bannamawulire ku kitebe kye kibiina ekisangibwa ku luguudo Balintuma e Mengo mu Kampala era nga gwe mulundi gwe ogw’asoose bukya alondebwa ku kifo ky’obwaMinisita.
Wano we yasinzidde nategeeza nti endagaano elimu ebintu bingi omuli n’okukyusa obukulembeze mu mirembe, nagamba nti naye be yayise bannakigwanyizi baagala buli kadde okusoma kifuula nnenge kye yagambye nti babalaba era bonna babagoberera bye bakola.
Bye twateesa nga tuli ne Pulezidenti Museveni byonna twabiteesa ku lwa bannaUganda era ffe abalengerera ewala tulaba nga mu ndagaano eyo mujja kuvaamu ebibala kale mwe mutunule kubanga ne bimu ku byo mwatandika dda okubiraba lwakuba temwagala ku byogerako muli mu byabufuzi” Mao bwe yayongedde okutaama
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com