AKULIRA Offiisi ya Ssentebe we kibiina kya NRM (ONC) Hajjati Hadijja Namyalo awanjagidde Katonda okutaasa bannaUganda ku bantu be yayise ab’olubatu, ab’efunyiridde okwekomya omusimbi ogulina okuyamba abanaku nabo babeeko kye bagabane ku keeki ye Ggwanga.
Namyalo agamba nti abantu abo beebamu era ku beefunyiridde okumulwanyisa saaako n’okumukonjera ebigambo ebitalina mutwe na magulu olw’ensonga nti abagambako nga alaba kiyitiridde.
“Nze sisobola kutunula butunuzi nga ensimbi ezirina okuyamba abantu abanaku nabo babeeko kye beekolera okusobola okwejja mu bwavu zitwalibwa abagagga oluvanyuma omugugu gwe bizibu gwonna ne gutikkibwa mukadde waffe Pulezidenti.
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yannonda ng’andabyemu obusobozi okukulembera offiisi ye nga sentebe we kibiina kya NRM kale sigenda kutya muntu yenna naddala abo abalowooza nti lino e Ggwanga lyabwe bokka, nga nabuli ekilimu balina okukyegabanya” Namyalo ayabadde asaba bwe yagambye.
Okwogera bino yabadde ku kabaga akaggalawo omwaka akaategekeddwa abakozi mu office of the National Chairman ONC okusobola okwebaza Katonda olw’emirimu gy’abakozesezza omwaka guno saako n’okusiima abakozi abo abanywedde mu banaabwe akendo nga kwotadde ne bannamawulire, akaabadde ku kitebe kya ONC e Kyambogo ku lw’omukaaga.
Ku mukolo guno era kwetabiddwako n’abakunzi be kibiina kya NRM okuva mu bitundu bya Buganda naddala abo abakulembedde ekisinde ekigendereddwamu okuzza omukulembeze we kibiina kya NRM era nga ye mukulembeze we Ggwanga Yoweri Kaguta Museveni avuganye ku bwa Pulezidenti mu kulonda okuddako mu 2026 ekyatuumibwa “Jjajja tova ku Main okyamalako”
Hajjati Namyalo yayongedde nategeeza nti ekigendererwa kya kabaga kano kwabadde kusabira offiisi gyakulembera, okusabira omukulembeze we Ggwanga saako n’okusabira e Ggwanga lisobole okuva mu kye yayise entobazi ne bitoomi bye litubiddemu lisobole okudda ku Main nga engombo yabwe bw’egamba.
“Ffe twajja kulaba nga eggwanga lidda engulu saako n’okutaasa mukadde waffe pulezidenti ebivumo ebingi abantu bye bamuvuma songa ensimbi ezikola emirimu aziwereza mu bantu be zikole kyokka ne ziriibwa abantu b’olubatu.
Mwali mukilabye ludda wa omwana asikira kitaawe nga akyali mulamu, ekyo tekikkirizibwa ne mu buwangwa bwawano kale abakilowooza banuune ku vvu.
Nze teri agenda kunkanga nve ku mulamwa, kubanga ekyo kye ky’annondesa okulaba nga ntaasa bannaUganda, nga mpita mu kulondoola ensimbi ezitekebwa mu project za Gavumenti ez’enjawulo okulabira ddala oba ziganyula omuntu oyo yennyini ali mu mbeera embi asobole okwejja mu bwavu” Namyalo bwe yagambye.
Akulira eby’amawulire ku ONC Hajj Ibrahim Kitatta yagambye nti bagenda kweyongerayo e Ggwanga lyonna nga babunyisa enjiri ya “Jjajja Tova ku Main” nti kubanga bakizudde nti abantu bakyayagala Pulezidenti Museveni agira akulembera e Ggwanga okusinziira ku bitundu gye babadde bayitibwa.
Sheik Sulaiman Gugwa ono nga ye Ambasada wa Uganda omuggya mu ggwanga lya Saudi Arabia mu kusaba yegayiridde Katonda ayongere okukuuma Pulezidenti Museveni era ne yewerera basiraamu banne abagamba nti Gavumenti ya NRM teyagala bayisiraamu nagamba nti ajja kuttunka nabo kubanga akimanyidde ddala nti NRM tesosola mu madiini.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com