OMUYIMBI Ronald Mayinja owa Eagles Production kyadaaki azzemu okudiikuula ab’oludda oluvuganya bwe yegasse ku Museveni gye buvuddeko gwe yagamba nti amutadde ne NRM ye.
Gye buvuddeko Mayinja yalaga nga bwe yali ayabulidde ekibiina kya NRM nga agamba nti ebyali bikolebwa Gavumenti ssi bye yali asuubira bye baateesaako n’abakulu mu kiseera ky’okunoonya akalulu we yabegattirako.
Nga wayise omwaka gumu nga akalulu kawedde mayinja yafulumya oluyimba oluvumirira Gavumenti ya Pulezidenti Museveni eyali amaze n’okulayira, olumanyiddwa nga “ABANTU BAGAANYE”.
Oluyimba luno lwewunyisa ensi era abantu ne beebuuza Mayinja kye yali aliko okutuusa bwe yavaayo mu lujjude n’ategeeza ensi nti yali amaze okuyitayita mu bantu ne bamutegeeza nti tebaagala Gavumenti ya NRM eri mu buyinza.
Ono era yagenda mu maaso naategeeza nti azeeyo ku ludda oluvuganya Gavumenti nti kubanga ebintu byali bitambula bubi nnyo nga tayinza kulekulira bantu banyigirizibwa.
Ye yayimba oluyimba “bizzeemu” olwatabula abakungu mu Gavumenti nga luno lwali lulaga nti ebyaliwo mu myaka gye 1980 byali bilabiseeko nga bizeemu ku mulembe gwa NRM nate.
Oluyimba luno era lw’atabula omukulembeze we Ggwanga Yoweri Kaguta Museveni bwe yali agenze mu kivvulu ky’omuyimbi Catherine Kusasira ekyali ku Serena Hotel mu 2019, era Kusasira yawalirizibwa okusika ku Mayinja omuzindaalo bwe yakitegeera nti omugenyi we omukulu Pulezidenti yali tasanyuse na luyimba “bizzeemu”
Wabula mu kiseera ekyo oluyimba olwo lw’ayongera okuwanika Mayinja era n’alabibwako mu lukungaana lwa bannaMawulire ku kitebe kye kibiina kya NUP e Kamwokya, mu butongole n’alangirira nga bwe yali agenda okuvuganya ku bubaka bwa Palimenti ewabwe e Gomba ku tikiti ya NUP.
Aba NUP baayongera okukuba gudiikudde nga balaga nti baali bafunye empagi luwaga eyali egenda okutambulizibaako kkampeyini zaabwe saako n’okuyiiya ennyimba ezisuuta omuntu waabwe Kyagulanyi Sentamu, wabula ekyabajja enviiri ku mutwe ate kwe kulaba mayinja nga yefuulidde mu kiti nga embazzi ne yegatta ku kibiina kya NRM era nayimbira n’eyali akutte bendera ye kibiina Pulezidenti Museveni Kayimba akakyaaka wonna akaali kamanyiddwa nga “Muzeeyi Akalulu”
Mu kayimba kano mayinja yayongera okwewunyisa abantu bwe yalombojja ebilungi enkuyanja Museveni ne Gavumenti ya NRM bye baali bakoledde e Ggwanga era naatambula e Ggwanga lyonna ng’ayimbira Pulezidenti Museveni saako n’okusuusuta abantu abaali beesimbyewo ku tikiti ye kibiina kya NRM.
Ono era yawebwa emmotoka kapyata ekika kya Landcruiser modulo eliko ekyanyiiza abamu ku bawagizi be kibiina lukulwe naye nga tebaalina kya kukola mu kiseera ekyo.
Akalulu nga kawedde waayitawo emyezi 7 gyokka n’atandika okwogerera Gavumenti nti abantu baagigaanye nga ayita mu luyimba lwe ABANTU BAGANYE era awo ab’oludda oluvuganya ne beesikamu saako n’okulowooza nti oba Mayinja yali afuuse mbega, wabula n’avaayo nategeeza nti ddala kituufu yali ayise mu bantu okwetoloola e Ggwanga lyonna ne bamutegeeza nti baali bakooye Gavumenti ya NRM.
Enviiri z’abavudde ku mitwe mu ngeri eyewunyisa ate Mayinja bwe yalabiddwako nga azzemu okutambula ne ttiimu ya mutabani w’omukulembeze we Ggwanga Gen. Muhoozi Kainerugaba emanyiddwanga TEAM CHAIRMAN ekulirwa muto wa Pulezidenti Toyota Kaguta.
Ono era yalabiseeko nga ayambadde engoye eziriko ekifananyi kya Gen. Muhoozi era nga yoomu ku baabadde basanyusa abantu mu bitundu bya Arua nawalala gye bazze bagenda nga beetaba mu mizannyo egyenjawulo.
Abantu ab’enjawulo baatandise okwebuuza Mayinja kyagoba oluvanyuma lw’okuba nga b uli kadde akyuka nabalala ne babyogera nti oba buli lwayavuwala ng’asojja Gavumenti esobole okumusasula???
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com