OMULABIRIZI w’eMukono,Kitaffe mu Katonda James William Ssebaggala yeebaziza nnyo Poliisi ya Uganda olw’okukolera awamu okusobola okulinnya ku nfeete ekisaddaka baana nga abantu abasinga bongedde okusenza Katonda n’okumumanya newankubadde wakyaliwo obwetaavu okutaasa ettaka ly’amasinzizo.
Okwebaza kuno kuno Omulabirizi Ssebaggala yakukoledde mu Bussaabadiikoni bw’eLugazi mu kusaba kw’okusaako abaana 65 emikono n’okusiibula abakulistaayo b’Obusumba bwa St Peter’s Lugazi Town Parish ng’ono yayaniriziddwa Ssaabadiikoni waayo Ven Canon Edward Balamaze Kironde,Abasumba,Ababuulizi ,Abakubiriza,Abakulira Poliisi y’eLugazi, n’abantu ba Katonda abalala.
yawerekeddwako Mukyala we Tezirah Ssebaggala Nakimbugwe era nga baatongozza enkola egenda okugobererwa Obusumba bw’eLugazi nga bayambibwako ab’ekitongole kya Lugazi Child Development Centre.
Oluvanyuma lw’okutongoza enkola eno, n’okukyalira abasilikale awamu n’abasiibe e Lugazi, Bishop Ssebaggala yeebaziza nnyo Poliisi ya Uganda olw’okukolera awamu okusobola okulinnya ku nfeete ekisaddaka baana nga abantu abasinga bongedde okusenza Katonda n’okumumanya, nabasaba okuvaayo okutaasa ettaka ly’amasinzizo ely’ongedde okwesenzaako abantu mu bumenyi bwa mateeka.
Ssaabadiikoni w’eLugazi Ven Canon Edward Balamaze Kironde yayogedde ku ebyo ebisuubirwa okukolebwa e kkanisa mu myaka 5 mu maaso omuli okuyimusa obuweereza bw’abavubuka n’abaana,okuzimba e Kkanisa, okulongosa essomero era nasaba abakulisitaayo okwenyigira obutereevu mu nteekateeka eno okusinga okubirekera abaweereza kubanga enkya bagenda kukyusibwa.
Eyakiikiridde addumira Polisi ya Sezibwa ASP Iganatius Agaba yeebaziza nnyo Omulabirizi Ssebaggala olw’okubakyaalira n’okubasiibula mu butongole nagamba nti nabo nga abantu abalala beetaaga Katonda, nasuubiza okugenda mu maaso n’enkolagana gye balina ne kkanisa.
Okusaba kuno kwetabiddwako Robinah Lukwago akulira Abakyala Abakulisitaayo,Herbert Ssenfuma akulira Abaami Abakulisitaayo ,Milly Nakirya Akulembera Abavubuka mu Bulabirizi, Mayor we kibuga kye Lugazi John Bosco Aseya nabalala.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com