ENSIMBI ez’etaagibwa okuzzaawo endaga muntu singa eba ekubuzeeko z’akwongezebwa okutuuka ku mitwalo 200,000 ez’aUganda sso ssi nga bwe kibadde ku mitwalo 50,000 gyokka.
Minisita we nsonga z’omunda mu Ggwanga Gen. Kahinda Otafiire yategezezza bino bannamawulire ku kitebe kya Minisitule ku Luguudo lwe Jinja mu Kampala.
Yategezezza nti ne nsimbi ezisasulwa abantu abalina bye baagala okukyusa mu biwandiiko byabwe ebibakwatako nazo zigenda kweyongera kino kisobozese abantu okuba n’obuvunanyizibwa okukuuma ebiwandiiko.
Otafiire agamba nti ensimbi zino basazeewo okuzongeza kubanga abantu bangi babadde beesuulirayo gwa naggamba okukuuma ebiwandiiko nga endaga muntu bye yayogeddeko nti byabuvunanyizibwa nagamba nti nga ekitongole babeera bakizza mabega buli kadde nga bakola ku mirimu gye baba baamala edda okukola.
“Naye kyo eky’okuddamu okuwandiisa abantu endaga muntu endala kugenda kutandika mwaka gujja, era nga tetulina kye tukyusizaamu abaagala ez’amangu baakusasula emitwalo 50,000 mu banka bazifunirewo awo, ate abatalina sente bajja kulindangamu okutuusa bwe zinafulumizibwanga” Otafiire bwe yagambye
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com