BWOYOGERA ku linnya Salim Kisekka mu bitundu bye Bukomansimbi, Sembabule ne Wakiso, abantu abasinga bamanyirawo nti oyogera ku muvubuka amanyiddwa mu kuwerera abaana batalina mwasirizi mu massomero ag’enjawulo.
Ono Takoma ku kya kuyamba bamulekwa bokka wabula agattako n’abaana abalala abalina abazadde kyokka nga tebasobola bisale bya massomero.
Nga ayita mu kitongole kya SK Charity Foundation ayamba abaana abawerera ddala 760, nga mu kiseera kino bali mu massomero ag’enjawulo okuli aga Primary Secondary ne Yunivasite basoma okusobola okwongera okutangaaza ebiseera byabwe eby’omumaaso.
Lwaki wasalawo okuwerera abaana
Mu kitundu gye nzaalwa e Bukomansimbi mu myaka gye 1980 okutuuka mu 1990 abazadde baali batono nnyo abaali basobola okuwerera abaana baabwe mu massomero amalungi era nze nakwatibwako Ekelezia nga nyambibwako omugenzi kati Bishop Kaggwa eyankwasa ekigo kya St. Joseph Kigando mu Kiboga gye nasomera.
Eno nasangayo abaana bangi abaali bayambibwako Ekelezia nga eno gye najja omutima oguyamba abatalina mwasirizi olw’engeri ennungi gye nayisibwamu nga sijurilira na kudda mu maka ga bazadde bange.
Neyongera okwagala okuyamba bwe nail mu siniya ey’okuna bwe twakyaza ku ssomero lyaffe omukulembeze we Ggwanga Yoweri Kaguta Museveni, eyandabamu ebitone eby’enjawulo okusinziira ku bukulembeze bwe nalina mu ssomero ekiseera ekyo bwe yampita okumpa ebbaasa naasaba abakulira essomero okwali sister Richard ne Father Kasole okutwala gyali anyongereyo nsome.
Bwe namusisinkana yantegeeza nti yali agenda kuntwala mu Ggwanga lya Tanzania neyongereyo okusoma kye nalaba nga gwali mukisa gwa maanyi.
Nagenda e Tanzania ne nsoma oluvanyuma ne neyongerayo mu Ggwanga lya Israel ne nkuguka era ne nkomawo nga nfuuse musajja wa maanyi ne ntandika okukola emirimu gyange mwe nzija sente.
Abaana bonna mbawererera mu massomero amalungi ddala okuli Bajja comprehensive, Kiti Islamic ss, Bukomansimbi SS, Kitaasa SS nagali ku ddaal lya Primary agawerako.
Kino nkikola ssi lwakufunamu naye bwe nzijjukira omutima abankwatako gwe baakozesa nange nga omuntu nziramu amaanyi ne neerekereza buli kimu okusobola okubaako engeri gye nkyusaamu ekitundu kyange gye nzaalibwa.
Okusunsula abayizi abasaanidde okuyambibwa
Nina ttiimu yange gye nkola nayo egendera ddala mu byalo wansi okusobola okulaba amaka ag’etaaga obuyambi nga ddala geego genyini okwewala okulimbibwa limbibwa abayinza okuleeta abayizi okuva mu maka ag’esobola.
Ttiimu eno era yelina obuvunanyizibwa okutunula mu biwandiiko eby’abayizi naddala abo abamazeeko siniya ey’omukaaga nga beetaaga okuyingira Yunivasite ne balondobwamu okugenda mu matendekero ag’enjawulo.
Ensimbi ozijjawa??
Nina Ebyuma bye mmwanyi ne bya kasooli, amasundiro g’amafuta ne mirimu emilala mwe nzija ensimbi kwe nfissa ze mpaayo okuyamba abaana.
Sikoma ku nsimbi za ssomero zokka wabula mbagulira ne mmere, ssukaali saako ne bitabo okusobola okubanguyiza obulamu.
Abazadde nabatandikiddewo ne bbanka mwe basobola okutereka n’okwewola ensimbi emanyiddwa nga Mixed Bukomansimbi Farmers Sacco nga eno yegenda okubayambako okusitula emirimu gyabwe gye bakola nabo babeemu n’akasente mu nsawo.
Kisekka okwogera bino yabadde Bukomansimbi ku lw’omukaaga nga asisinkanye abazadde n’abaana abayambibwako SK Charity Foundation, nga bamwanjulira ebyaliiwo mu lusoma olwaggwa saako n’okubata mu butongole buli mwana addeyo mu ssomero gy’asomera.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com