OMUKULEMBEZE we kibiina kya Nationala Unity Platform Robert Kyagulanyi Sentamu yenyamidde engeri abakulembeze abaalondebwa ku kaadi ye kibiina kya NUP gye beeyisaamu nagamba nti bano alaba batandise okuva ku mulamwa ogw’abalondesa abantu.
Kyagulanyi agamba nti ye olw’okuba ayagala wabeewo obwenkanya mu ntambuza ye mirimu mu Ggwanga kyeva yasalawo okuleka banne abaayitamu ku mitendera egy’enjawulo omuli ababaka ba Palimenti ne ba kkansala bayingire zi offiisi ezabakwasibwaa abantu basobole okukola emirimu gy’ababalonda saako n’okulwanyisa obukulembeze bwa NRM nga bakozesa ebifo ebyo.
Wabula agamba nti bano abamu ku bbo ekyabalondesa baakivaako dda nga kati omulimu omunene gwe basinga okukola kwe kwekulubeesa n’abekibiina ekiri mu buyinza saako n’okubayambako okutuukiriza ebigendererwa byabwe, byagamba nti tebikyalina kye bigasa bannaNsi.
okwogera bino Kyagulanyi yabadde Kayunga mu maka g’omugenzi Ffeffekka Serubogo eyali Ssentebe wa Disitulikiti ye Kayunga eyafa gye buvuddeko nga kigambibwa nti yeetugira mu makaage nga yakajje alayizibwe ku kifo ekyo.
” Mwe bwe mutunula mu bakulembeze baffe be twalonda bakyali ku mulamwa oba baabivaako dda??” Kyagulanyi bwe yabuuzizza bannaKayunga.
Oluvanyuma olube lwavudde mu bantu nga bonna bagamba nti omulamwa abakulembeze baguvaako dda buli omu akola bibye, era abatuuze ne banokolayo ensonga ya babaka okwezibika obukadde 40 obutaalina mbalirira ne bagamba nti kino kye kimu ku bintu ebyasinga okubatabula wakati nga ensimbi y’omuwi w’omusolo etotoogana.
Kyagulanyi mu kwanukula yagambye nti ensonga y’obukadde 40 yagirwanako kyokka ababaka be ne beerema okuzizaayo nagamba nti bano yabakwasa balonzi be banasalawo.
“Buli kimu mwe bakama baffe abatulonda ensonga ennemerera gye mbbakwasa era neeyo ngibakwasizza nga bwe nabakwasa ey’omusango” Kyagulanyi bwe yayongeddeko.
Ffeffekka Serubogo yasangibwa nga alengejja ku muguwa ku muti ogwali okumpi n’amakaage mu kibuga kye Kayunga nga kigambibwa nti batta mutte kyokka oluvanyuma Lipoota ya Poliisi yafuluma nga elaga nti ono yali yeetuze bwetuzi.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com