Akulira ekitongole ekilwanyisa obulwadde bwa mukenenya mu Nsi yonna (UNAIDS), Winnie Byanyima alidde mu ttama naabuuza lwaki Gavumenti elemedde ku ky’okusiba Omwami we Dr. Kiiza Besigye mu kifo ky’okukola ku nsonga y’okukendeeza ebbeyi ye bintu gyagamba nti eno y’etanula Besigye okwekumamu ogutaaka.
Byanyima okwogera bino yabadde yakava mu kkomera e Luzira okulambula ku mwami we Besigye eyakwatibwa gye buvuddeko naggalirwa ku misamngo okuli okukuma mu bantu omuliro saako n’okufuuka ekyenyinyalwa.
“Omusajja wange musanze alabika bulungi era n’omutima gwalina okulwanirira abanaku gukyali waggulu nnyo talina kutya” Byanyima bwe yategezezza.
Yanyonyodde nti ayagala okumanya omuntu asazeewo okulwanirira bannaNsi abakaaba ebbeyi y’amafuta ne miwendo gye mmere okwongera okwekanama ate lwaki akwatibwa, songa waliwo abaselikale ba maggye abasiga obusosoze ku mikutu emigatta bantu balya butaala.
“Kinewunyisa okulaba omujaasi omulamba nga asiga ob usosoze n’obukyayi nga talina yadde kyakolebwako, kyokka Besigye alwanirira abantu ba bulijjo engeri gye babonabonamu ne bbeyi ye bintu eyekanamye ali munda mu kkomera tateebwa” bwe yabuuzizza.
Yasabye be kikewatako bate mangu Dr. Besigye n’abantu abalala bonna abali mu makkomera olw’okulwanirira bannaUganda olw’ebbeyi ye bintu.
Besigye yakwatibwa sabbiiti 2 emabega mu Kampala wakati bwe yali alaga obutali bumativu olw’ebbeyi ye bintu eby’ekanamye
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com