OLUVANYUMA lw’ekirwadde kya Covid 19 okusalako e Ggwanga emirimu egy’enjawulo gyayimirira saako n’abamu ku bakozi okuggalawo ebifo we bakolera nga ensimbi zibaweddeko.
Kino kyaleetawo embeera mu bantu okutya nga balowooza nti kizibu okuddamu okufuna ebyamaguzi mu bifo we baateranga okubisanga n’abamu okulowooza nti olina kutambula ngendo mpanvu okusobola okubifuna.
Wakati nga omuggalo guweddewo abantu ab’enjawulo baddamu nate okukola, kyokka nga basanga obuzibu bunene okulaga abantu eby’amaguzi byabwe, abamu ku bavubuka mu Mukono kye balowooza nti kisoboka abasuubuzi ne bannaMakolero okwolesa bye bakola saako n’okulaga ebitundu gye basangibwa.
Mu kyo Kkampuni ya Media Seventy Seven saako n’obukulembeze bwe Kibuga kye Mukono basazeewo okutegeka omwoleso ogugendereddwamu okukuba abantu bizinensi mu maaso saako n’okuwa omwagaanya abadigize beyagaleko.
Omwoleso guno gutuumiddwa Mukono Business Festival, nga gugenda kuyindira mu kibuga wakati okuva nga 8 ogw’omusanvu okutuusa nga 10, ekifo ekilondeddwa kiri ku luguudo olugatta Bishop Tucker Road okutuuka ku kitongole kya Works nga oyise ku kitebe kya Disitulikiti.
Omu ku bategesi b’omwoleso guno Richard Kateregga Mivule ategezezza mu lukungaana lwa bannamawulire olutudde ku kitebe kya Disitulikiti ye Mukono nti ekinyusi ky’omwoleso guno kwe kulaba nga abasuubuzi n’abakozi be mirimu abalala bavaayo ne balaga bannaMukono ebintu eby’enjawulo bye bakola.
Ategezezza nti abagenda okwolesa ab’enjawulo baatandise dda okwekwata ebifo mwe bagenda okuteeka ebintu byabwe okusobola okubitunda saako n’okubyogerera okumanya wa we basangibwa.
“Amasomero, abatunda engoye, abafumbi be mmere, amakkampuni amanene agakola eby’omumaka, Bbanka, kkampuni za masimu n’abala bonna bamaze okwekwata ebifo era kati tulinze lunaku mulindwa tutandike.
Tusaba abazadde n’abamasomero okuleeta abaana basobole okulambula ebintu eby’enjawulo saako n’okunyumirwa okwabuli kika okugenda okubaayo” Kateregga bwe yagambye.
Meeya we Kibuga kye Mukono Erisa Mukasa Nkoyoyo ategezezza nti nga obukulembeze bwe Kibuga nabo bagenda kwetaba buterevu mu mwoleso guno, era nagamba nti amaze okutuukirira ab’ebyokwerinda okulaba nga bakuuma abantu bonna abagenda okwetaba mu mwoleso guno.
Ategezezza nti bamaze okukwatagana n’abakola ku nsonga z’obuyonjo okulaba nga enguudo zonna awagenda okubeera omwoleso ne bikujjuko nga wayonjo okutuukana n’omutindo gwe by’obulamu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com