ABABAKA B’ekibiina kya National Unity Platform NUP abakyesisiggirizza okuzaayo ensimbi obukadde 40 ez’abawebwa wiiki ewedde ne kigendererwa ekitategerekeka boolekedde okutwalibwa mu kakiiko k’ekibiina akakwasisa empisa babonerezebwe nga amateeka g’ekibiina bwe gagamba.
Kino kiddiridde amaloboozi okuva mu babaka nga bagamba nti kikafuuwe tebagenda kuzzayo nsimbi zino, nga bagamba nti n’abamu kubo batandika dda okuzikozesa emirimu egy’enjawulo mu bitundu gye bakiikirira.
Wabula akulira oludda oluwabula Gavumenti mu Palimenti Mathias Mpuuga Nsamba yategezezza nti ekilagiro ky’okuzaayo sente kwabadde kusalawo kwa kibiina nga omubaka wa NUP atazizeeyo wakutwalibwa mu kakiiko ke kibiina akakwasisa empisa abonerezebwe.
Mpuuga yategezezza nti ddala kituufu abamu ku babaka baabwe abasoba mu 40 baakwata sente zino zaagamba nti tezaali mu makubo matuufu nti kubanga ensimbi abababaka ze bafuna zimanyiddwa mu mateeka nga talaba nsonga lwaki ate bakkira ezitali mu mateeka ne babakana n’okuzivaabira.
Ensonda mu kibiina kya NUP zilaga nti ababaka abasinga abaafuna ensimbi zino ssi betegefu kuzizaayo, nga bagamba nti ne zebateeka mu mirimu gye kibiina nyingi nga tebalaba nsonga lwaki abakulu babakaka okuzizzaayo.
Ssenkaggale we kibiina kya NUP Robert Kyagulanyi Sentamu ku ntandikwa ya wiiki eno yayisa ekiragiro eri buli Mubaka wa NUP okuzzayo ensimbi ezaali zimuwereddwa obukadde 40 nga baziyisa mu offiisi y’akulira oludda oluvuganya kyokka n’okutuusa kati teri mubaka yaatodde yadde 100 okukizaayo.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com