EYALIKO Ssenkaggale we kibiina kya FDC mu Ggwanga Col. Rtd. Dr Kiiza Besigye aweze nga bwatagenda kukakkana n’akusirisa butali bumativu bwe ku mbeera ye bbeyi ye bintu gyagamba nti esusse okunyigiriza bannaUganda.
Besigye ono era nga ye mukulembeze we Kisinde kya People’s Front for Transition agamba nti ye okusibwa wiiki 2 tekirina kye kiyinza kumujjako kubanga eyo embeera yagiyitamu kko dda oba oli awo nesingako awo nti wabula kyasinga okufaako be bannaUganda abatubidde mu mbeera ye bintu okuba waggulu.
Besigye ku mande yalagirwa asasule obukadde 3 mu kifo kya 30 agaali gaamusabibwa mu kusooka era nazisasula nalyoka ateebwa.
Bwe yabadde ayogerako ne bannamawulire oluvanyuma lw’okuteebwa Besigye yagambye nti okusinziira ku bukwakkulizo obwamutekebwako omulamuzi kyalaga lwatu nti essiga eddamuzi nalyo lyawambibwa Gavumenti eri mu buyinza nagamba nti byonna bajja kubilwanyisa nga bayita mu mateeka.
“Sitidde naakamu era siyinza kwenenya yadde, kubanga mmanyi nti bino bibaddewo era bingi bikyajja okuntuukako naye sigenda kulekera awo kulwanirira muntu wa wansi na ddembe lya Bannauganda okutuusa nga waliwo ekikyuseeko” Besigye bwe yagambye
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com