EMBEERA eyongedde okutabukira abakulu mu kiwayi kya NUP e Kamwokya oluvanyuma lwa mawulire okufuluma nga waliwo ababaka abali ku kaadi ya NUP abatandise okukolagana n’obukulembeze bwe kibiina obuggya.
Wiiki ewedde ttabamiruka we kibiina kya NUP yatuula mu bitundu bye Mukono era abakiise bonna obutesalamu ne basalawo okuzza eyali omukulembeze waabwe Moses Kibalama Nkonge ku bwa Ssenkaggale bwe kibiina.
Bano era baasalawo abadde omukulembeze Robert Kyagulanyi Sentamu okubeera nga yavunanyizibwa ku nsonga z’ebweru we Ggwanga mu kibiina nga bagamba nti eno ajja kuyamba nnyo okusakira ekibiina.
Ebyo bibadde bikyali awo ate abamu ku babaka ba NUP ne batanula okukolagana n’obukulembeze obuggya mu kyama nga bagamba nti engeri ab’eKamwokya gye bafuuse kyesirikidde ku nsonga ezigenda mu maaso wandibaawo ensonga erimu eggumba wakati.
Bano abatagadde kufulumya mannya gaabwe bagamba nti okusinziira ku kya balaba kyandiba ekizibu obukulembeze bwe Kamwokya okuddamu okubeera obwomuzinzi mu kibiina kya NUP.
“Kati ffe mwagala tukoleki nga n’abamu ku ffe tetwamanya ndagaano yakolebwa wakti wa mukadde waffe Kibalama ne Kyagulanyi, wabula ffe twatuukiriza ebisaanyizo ebyatusabibwa okukwatira ekibiina bendera era ne tuwangula, buli kye batusaba tubadde tukikola mu bwesimbu n’amazima wakati mu kubeerawo kwe kibiina kyaffe ate nga twagala” Abamu ku babaka bwe baategezezza.
Baayongeddeko nti tebagaala kufiirwa bifo byabwe ye nsonga lwaki baasazeewo okukolagana n’obukulembeze bwa Kibalama.
Mu kiseera kino Kibalama n’olukiiko lwe baamaze dda okuwandiikira akakiiko ke by’okulonda nga babanjulira abakulembeze ba NUP abaggya saako ne kitongole ekikola ku kuwandiisa amakampuni URSB.
Emyaka 2 egiyise Kibalama ne Kyagulanyi baatuuka nti Mwami Kyagulanyi akwateko mu bukulembeze nga bwe wayitawo emyaka ebiri batuuze ttabamiruka we kibiina balonde obukulembeze obuggya.
Wabula okusinziira ku Sabawandiisi wa NUP omuggya Paul Simbwa Kagombe yategeeza nti byonna bye baatesaako abakulembeze be Kamwokya babiisuula mu guluka nga ye nsonga lwaki baasazeewo okubateeka ebbali okusobozesa ekibiina okugenda mu maaso.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com