Wakati nga e Ggwanga lyonna liri mu katuugabiro ke by’enfuna , ebbula Lye mirimu, okulinya kwe beeyi ye bintu awamu n’obwavu obukudde ejjembe mu bannaUganda akulira ekisinde kye by’obufuzi ki National Economic Empowerment Dialogue Joseph Kabuleta agamba nti bino byonna bisoboka okudda mu nteeko mu bbanga lya myaka 2 gyokka singa Gavumenti elumirirwa abantu.
Kabuleta agamba nti ne nkola ya Gavumenti okudibya awamu n’okwezza ebirime binnansangwa okugeza nga emwaanyi bampa n’ebirala bikolebwa kagenderere okukuumira abantu mu bwavu ekintu kyagamba nti kirina okukyusibwa.
Okwogera bino yabadde mu bitundu bye Busoga ku lw’okutaano mu kawefube gwalimu okusisimula bannaUganda okutandika okufaayo ku by’obugagga ebiri mu bitundu mwe bawangalira.
“ Ye nze nzekka munabyabufuzi mu Uganda agamba nti ddala kituufu tulina okujjako Museveni naye ate tulina n’okulaga aabantu baffe amakubo mwe basobola okufunira okwesiima n’okugaggawala.
Twagala tusaanyewo obwavu obugoyezzagoyezza abantu baffe mu bitundu eby’enjawulo abamu ne batuuka n’okuggwamu essuubi, nga kino kiletedde n’abamu okufa nga bakyali bato ekitali kulungi n’akatono” Kabuleta bwe yagambye.
Yanyonyodde nti obwavu obuli mu nsawo za bannaUganda bungi nnyo kyokka nga tebalina suubi lya kubuvaamu ate nga nababagamba okuwakanya Gavumenti bafaayo ku kintu kimu kujjako Museveni sso ssi kubakulakulanya.
“Ekitundu kya Busoga kilina okuddamu amaanyi mu byenfuna nga wano Gavumenti elina okuddamu okuzzaawo amakolero agaaliwo saako n’okwongera amaanyi mu by’obulimi awo abantu beeno bwe bajja okuwona obwavu” Bwe yayongeddeko.
Oluvanyuma ono yaguddewo ofiisi ye kisinde kya NEED eye bendobendo Lye Busoga nga eno District 12 ezikola busoga we zigenda okusimba amakanda okusobola okukakalabya emirimu gy’ekisinde.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com