SSABALANGIRA wa Buganda Godfery Musanje asabye ab’olulyo olulangira okwongera okubeera obumu olwo nga bwe banasobola okubaako ebintu eby’amaanyi bye bayinza okutuukako bwe banabeera bakoledde wamu.
Bino Ssabalangira yabyogeredde ku kyalo Buddo Kisozi mu kutereka omubiri gw’omulangira Elizephani Tebandeke ng’ono ye Musumba eyatandiika e kanisa ya balokole aba pentikoti mu greater Mukono emannyiddwa nga sayuni Christian Centre esangimbwa mu Coliine Village mu kibuga Mukono era nga ya badde taata w’omusumba we kanisa za Mt Lebanon mu ggwanga Omusumba Samuel Lwandasa.
Ssabalangira mungeri yemu alajjanidde gavumenti okuvaayo kunsonga ye kibba ttaaka ekifumbekedde mu ggwanga,eyamba banansi kuba bangi kati bafuuse momboze munsi yabwe.
Ye omubaka we kibuga Mukono Betty Nambooze Bakireke alaze okutya olwa basumba babalokole abagala okwefuga nga bo buli kiseera ekintu kyagambye nti kyononye obulokole saako nokwagala okwonona e kanisa ku mulembe gunno,bwatyo nasaba watekebwewo empangi abasumba kwebatambulira.
Ye akulira ezikiriza ya balokole mu ggwanga Dr Joseph Sserwanda ye nyamidde olwabantu abefunyiridde okutunda ebifo okutunde omulimu gwa mukama ne batuuka nokutunda amasasinzizo olwokwagala ensimbi,nasaba nti kino kisanye okukoma bunambiro.
Akutidde abantu okufubanga ennyo olulekaga omukululo nga omusumba Tebandeke bwakoze saako nokwagala wamu nokusembeza abantu awatali kusosola.
Omusumba Samuel Lwandasa omu ku bamulekwa asimye abantu abenjawulo olwokuyimirira nabo era nasaba abantu okuberaga nokwagala saako nokuaonyiwagana.
Musumba Tebandeke yaffiridde ku myaka 99 era ngabantu abenjawulo okuli omulamuzi Henry Kaweesa Isabirye, Omutuume John Bujjo,Omulabirizi wa Prayer Palace Grevas Musisi Salongo,Omutuume Alex Mitala, omutuume Francis Katongole,abakungu okuva mu bwakabaka bwa Buganda saako ne gavumenti yawakati betabye mu kuzika kunno.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com