PULEZIDENTI Yoweri Kaguta Museveni era nga ye muduumizi wa maggye ow’okuntikko akuzizza abajaasi mu Ggye lye Ggwanga UPDF 67 ku madaala ag’enjawulo.
Okusinziira ku mwogezi wa maggye Brig. Felix Kulaigye yategezezza nti omukulembeze we Ggwanga yakuzizza Brigadier Abdul Rugumayo nga ono abadde ku ddaala lya colonel.
Rugumayo era yakajja afune ekifo ky’obumyuka wa kkomanda we kitongole kya maggye ekikessi CMI.
Abajaasi abalala 62 baasumusiddwa okuva ku ddaala lya Captain okutuuka ku Major, ate 13 ne bava ku Lieutenant okutuuka ku Captain mu maggye ge Ggwanga.
Kulaigye yagambye nti okukuza abajaasi mu maggye kikolebwa okusinziira ku neeyisa n’obukozi bwa bajaasi.
Brigadier Abdul Rugumayo oluvanyuma lw’okufuna amawulire nti yoomu ku basuumusiddwa eddaala yebazizza omukulembeze we Ggwanga era Kkamanda ow’okuntikko okumulowozaako, ne yeyama okukola okulaba nga taswaza bakamaabe.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com