Winnie Amoo Alison, nga ono ye yali mukyala wa Jacob Oulanya abadde Sipiika akalambidde ku nsonga yokubikkula keesi omuli omulambo gwa bba abantu bonna bagulabeko.
Nga ayita mu bubaka bwe bwatadde ku mukutu gwe ogwa Facebook Amoo agamba nti okuva omulambo gwe yali omwami we bwe gwatuusibwa mu Ggwanga teri yali agukubyeko riiso kyagamba nti tekilabise bulungi.
Olunaku lw’okubiri abamu ku babaka baabadde basabye Sipiika Anita Among wakiri balabe ku mwagalwa wabwe kyokka nabategeeza nga bwe kyabadde tekyetaagisa, era nagamba nti ye yabadde amaze okumulaba nga mungeri eyo yeyabakiikiridde ekyaleseewo oluvuvuumo mu babaka.
“Simanyi oba kimenya amateeka mu Uganda ababaka okukuba eriiso evanyuma ku mubaka munaabwe ate nga abadde yemukubiriza waabwe” Amoo bwe yategezezza
Ono yayawukana ne Oulanya mu October wa 2016 oluvanyuma lw’okwawukanira mu kkooti era obufumbo bwabwe ne busattululwa nga kati abeera mu Ggwanga lya America.
Wabula oluvanyuma akawungeezi ka leero kitegerekese nti ssanduuke emaze n’eggulwawo ku kisaawe e Kololo abantu abamu ne bamulabako.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com