Poliisi mu Kampala ekutte ne ggalira omugagga Emmanel Kaweesi Lwasa ku bigambibwa nti aliko ebiwandiiko bye yajingajinga saako ne mikono gya bantu abakulu mu minisitule ye by’obugagga eby’omuttaka.
Okusinziira ku mumyuka w’omwogezi wa Poliisi mu Kampala ne miriraano Luke Oweyesigyire, Lwasa yakwatiddwa ku mande nga kigambibwa nti aliko ebiwandiiko ebijingirire ebikwata ku kusima Zaabu bye yafulumya.
Okukwatibwa yasangibwa Najjanankumbi ku offiisi ye ku misango gy’okujingirira omukono gwa Dayirekita ku kwekeneenya ebilombe omusimibwa eby’obugagga by’omuttaka ( Director Geological survey and mines) Alaba saako ne Grace Lajwe nga naye mukozi mu Minisitule eno nga alaga nti bano baawa obuyinza kkampuni ze okuli Trans Equator Miners Ltd ne Trade Pannel International Limited okusima zaabu mu bilombe okwetoloola e Gwanga.
Owoyesigyire yagambye nti kino kyadiridde poliisi avunanyizibwa ku kukuuma eby’obugagga by’omuttaka okutandika okunonyereza baani abajingirira emikono gya bakulu mu minisitule era ne bakizuula nga Lwasa yoomu ku bbo.
Ono era abadde yakajja ateebwe ku nsonga ezifananako bwe ziti nga mu January yakwatibwa oluvanyuma lw’okufuna ensimbi mu lukujjukujju obukadde 200 okuva mu munnansi wa China oluvanyuma nateeba ku kakalu ka Poliisi.
Kkampuni ze okuli Trans Equator Miners Limited ne Trade Pannel International Limited, zonna zikola mirimu gya kusima n’okutunda Gold.
Ono era amanyiddwa nnyo nga omulyi wa ssente mu kibuga era nga n’abakyala buli kadde aba akyusakyusa.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com