BYA BRIAN MUGENYI
LEVIXONE MUBUMPI
Amanya: Sam Lucas Lubyogo
Erinya epaatiike: Levixone
Emyaka: 28
Kyakola: Muyimbi
Ezimu kunyimba ze: Turn the replay, Ani alina amanyi, Watching You, Wedding story, Kirooto nendala.
Bazadde be: Maama (Winnie Mutamba), Taata (negyebulikati tamumanyi)
Amasomero mwe yasomera: Treasured kids nursery school, Kasubi parents, Grace High school ne St Joseph Mapeera weyamarira mu siniya eyokubiri.
Ttiimu gyawagira: Manchester United
Ekyajimwagaza: Cristiano Ronaldo.
Amanya ga ttiimu ye: Frankfurt FC (Esangibwa Kosovo, Lubaga)
Abazannyi balina: Nicholas Magezi, Ezra Ssengendo, Osama Kigundu, Rogers Kasule, Kasimu Kigozi, Muhamad Kasirye, Mogan Ssemwanga, Denis Kyagulanyi, Ismail Ssewava, George Gayi, Martin Katongole, Rosco Muwanguzi, Moses Gegawa, Kato Lawrence, Joram Male, ne Joshua Kawuma.
Kizibu okubuuza abayimbi abaliko mu Uganda bwekituuka mukuyimba awamu nokuwandika enyimba ezitendereza omutonzi nebatakuwa Levixone.
Omwaka gwetukubye amabega, oyinza okugumba gubadde gugwe. Kyokka nga negunno awaganyiza.
Ayimbye enyimba nnyingi ezitendereza omutonzi nga mweezo mwemuli n’olwa ‘Turn the replay’ olumubunyiza amawanga agawerako wano mu Africa kwoteeka ne ‘Embeera’ lweyayiiya ne Eddie Kenzo.
Gyebuvuddeko yayitibwa ekitongole kya Airtel Ug, okwetaba mukuyiiya enyimba ezikunga abawagizi okujja okuwagira ttiimu ye gwanga.
Levixone musajja mulokole eranga obulokolerebwe atambula nabwo kungulu nemunda. Takyuukakyuuka.
Ng’ogyeko omuziki, kumpi obulamu bwebwonna bwobanga wekannyiza emabega bubadde butambulira nnyo kumupiira.
Oluberyeberye, yatandikira kuguzannyira ku Treasured Kids weyasomera era awo ekitongole kya Fields of Life wekyamulabira nekitandika okumuwerera.
Wano, bawagula ebirabo ebiwerako kwoteeka nekikopo kya Nkalubo Cup ekyetabwangamu amasomero g’omu Lubaga. Mu mpaka zezimu Levixone yeyawangula ekirabo kyomuzannyi eyasinga bane okukyanga omupiira era yawebwa nesaawa eyokumukono ngekirabo.
Okuva olwo aze yetaba mubyemizannyo negyebuli kati awera nti siwakusa mukono.
Ngamunabyamizannyo yenna, Levixone naye akeera kukola duyiro.
Omupiira, kuye kiringa dagala. Buli wafuna ebimwerarikiriza mubulamu, bwaaba tayiyiza luyimba agenda wakiri neyetaba mukuguzannya omupiira ne ttiimu ye gyeyatandikawo emanyiddwa nga Frankfurt FC.
Eno esangibwa kukisaawe kya Kosovo, mu Lubaga, Kampala wansi womutendesi Ryzan Zion Churchson.
Ebimu kubyamutandisaawo ttiimu eno kwekulaba ng’akendeeza awamu nokumalawo obumenyi bwamateeka mukitundu olwensonga nti abavubuka bayitiriza emize okuli; ogw’okuba, okunywa enjaga awamu nokunuusa amafuta kyagamba nti kyaali kisuse.
Atandika okuwagira omupiira
Oluberyeberye, omuzannyi Cristiano Ronaldo dos Santos Aveiro mukaseerakano aguchangira mu Juventus FC wali e Italy, yeyamusikiriza okwagala ennyo omupiira.
Ronaldo, myaaka 33, bweyegatta ku Manchester United, Levixone yawalirizibwa okutandika okuwagira ttiimu eno.
Ronaldo, yegatta ku Mancherster United musizoni ya 2003-2004 wansi w’omutendesi Sir Alexander Chapman Ferguson ngaava mu ttiimu ya Sporting Lisbon eye Portugal.
Bweyalaba nga Ronaldo afuuse ensonga ku Manchester United, Levixone agamba nti tewaali kubuuza kulala yatandikiraawo okwagala ttiimu eno negyebuli kati kwafiira.
Buli Ronaldo weyaberanga mu ttiimu eno nakajjoozi ke akamyuufu akabeerangako namba musanvu, Levixon omwoyo gwe gwabeera nga mukakamu.
Agamba nti omuzannyi ono yali wanjawulo. Mirundi mingi yalekangawo nemere awaka okusobola okulaba emipiira gya Mancherster United.
Mubiseera Ronaldo bweyegatira ku Manchester United okuvugannya muttiimu eno kwali kwaamanyi.
Kuviira ddala kumukwasi wa ggoolo; Tim Howard abazibizi; Luke Steele, Wes Brown, Rio Ferdinard, Mark Lynch nabazannyi abalala abanyi nga; Ruud Van Nistelrooy, Luis Saha, Diego Forlan ne Ole Gunnar Solskjaer mukaseera kano abatendeka, kyabeera nga kizibu okulabanga Ronaldo mukisaawe mubuli mupiira.
Wabula olwokuba nti kuvadda nga Ronaldo muzannyi mukozi atenga nekyakola akyaagala, Levixone agamba kyamuyamba nnyo.
Agamba nti Ronaldo yasobola okweyubula natandika okuzannya omupiira mu Manchester United kumyaaka 17 gyeyali alina awatali kutya.
Wabula Ronaldo teyawangalira nnyo mu Manchester United. Awamu wonna; yabazannyira emipiira 292 nabateebera ggoolo 118 okuva mu 2003 okutuuka mu 2008.
Bweyegatta ku Real Madrid, Levixon teyasigala ku Manchester United kwokka. Agoberedde Ronaldo buli walaze yadde nga kumutima Manchester United gyeyasaako.
Ng’omutu, Levixone yayagala Ronaldo ng’omuzannyi era ekyokusalawo nava mu Manchester United takirinako buzibu.
Okuva olwo, Ronaldo walaga ne Levixone walaga. Obwagazi bwamulinako kizibu okubupima. Wabula bwoba omwekannyiza bulungi osobola okubulaba nadala buli wayogera kulinnya Ronaldo.
Mukaseera kano Juventus ye ttiimu Levixone gyatasubwa kulaba. Okuva Ronaldo weyagyegattako omwaka oguwedde kumpi buli mupiira ttiimu eno gwezannye omuyimbi ono agulabye.
Ronaldo nejaali mu Juventus yetimba omujoozi namba musanvu. Era bwekiri nekumijoozi gya Levixone ejisinga gyayambala.
Gyebuvuddeko, omuzannyi ono yaweza ggoolo ebikumi 400 oluvannyuma lwokuteeba ggoolo eyali empitirivu nga bazannya Genoa omupiira ogwagwa 1-1 kukisaawe kya
Allianz Arena.
Ekyokyafuula Ronaldo omuzannyi eyasooka okuteeba ggoolo 400 mu liigi zabulaaya zonna. Levixone weyawulira bino, obwagazi bwe kumuzannyi ono bwamweyongeera.
Ng’ogyeeko okuteba ggoolo, Levixone agamba nti Ronaldo era muzannyi wampisa. Agamba nti mirundi minji abazannyi abamanya nadala wano mu Uganda beyisa mungeri etali yabuntu olwetutumu lyebabeera bafunye ekitali ku Ronaldo.
Levixone agamba nti kulinnya Ronaldo lyalina, ggoolo zateebwe kwosa na amattiimu agamannya gazannyidemu yandibadde nokubuuza tabuza.
Agamba nti nemukuja okutendekebwa yandibadde takyajja olwetutumu lyalina mukuchanga omupiira.
Kyokka, Levixone kimwewunnyisa okulaba nti buli lunaku lwalaba Ronaldo ngatendekebwa nemukuzannya abanga eyakatandika okuzannya omupiira.
Levixone anyumya nti Ronaldo nga ali mukisaawe abeera nennyonta nnyingi nnyo eyokunonnya awamu nokubeera nomupiira mukisaawe ekitali nnyo kubazannyi abasinga nadala abateebi.
Ng’omuzannyi Ronaldo ayagala nnyo okukozesa omubiri gwe. Buli lunaku olukya kunsi Ronaldo alutwala nga lwamugaso nnyo mubulamu awamu nekukitone kye ekyokuzannya omupiira.
Muzannyi ayagala ennyo okukakalukana eranga buli lunaku akeera nnyo neyetedeka nga ye awo oluvannyuma nayolekera ekisawe kya Vinovo (Juventus centre) ekisangibwa mu Turin, okutendekebwa.
Mukiseera kino kuttiimu ya Juventus Ronaldo atendekebwa Massimiliano Allegri eranga amagoolo akyateeba.
Ng’ogyeeko okuteeba amaggoolo, Levixone era agamba nti Ronaldo afuna nobudde obukomawo ensangi zino okuyamba kubazibizi be okuli; Giorgio Chiellini, Medhi Benatia, Alex Sandro ne Andrea Barzagli singa babeera balumbiddwa omulabe.
Ezimu kuggoolo Levixone zatayinza kwerabira Ronaldo zateebye kwekuli gyeyateeba Arsenal mu 2009 mubiseera bya Ferguson ng’omutendesi.
Ng’omuzannyi, Ronaldo yabonyabonya nnyo Arsenal mubiseera Wenger weyabererawo.
Mukikopo kyabulaaya kyokka, Ronaldo yateeba Arsenal ggoolo bbiri, atenga mu liigi yabateeba 11 awamu nemu FA Cup mweyabatebeera ggoolo bbiri.
Levixone, agamba okuva Ronaldo weyava mu Manchester United, tanalabawo muzannyi ayinza kumwenkana.
Wabula agamba nti alabawo abazannyi nadala musaayi muto; Ander Herera gwagamba nti mukisawe omutima gwalina nobwagazi bwayolesa ngazannyira Manchester United oyinza okubwolekannyaako ne Ronaldo bweyalina nga yakajja.
Mukiseera nga Manchester United eri mukwezabugya wansi womutendesi Solskjaer, Levixon agamba nti akyali mugumu era luliba olwo balidamu nebawanika kukikopo nadala ekya liigi.
Wano kubutaka. Levixone muwagizi wa SC Vipers. Ezimu kunsonga zaawa ezamuwagiza ttiimu eno ye nanyiyo Lawrence Mulindwa gwagamba nti abeereddewo nnyo omupiira gwawano.
Vipers gyawagira, eri wansi womutendesi Edward Golola yadde nga omuzannyi gwatayagala kusubwa kwogerako ye Moses Waiswa.
Levixone agamba nti mubamusaayi muto Uganda beyali ebadde nabo abachanga akapiira yafunye Waiswa.
Olwokuba nti emirundi ejisinga abeera mubivulu, oluusi nemukutambula wabweeru wegwanga, Levixone tanaba kuwaayo nnyo budde kulaba Waiswa e Kitende.
Wabula anyumya nti eyo sinsonga. Ekyamwagaza Ronaldo sirwakuba nti afuna obudde nawayamuko naye wabula kugoberera ebyo ebyo ebimufaako. Eyo yensonga yemu gyaawa ne ku Waiswa.
Buli mupiira Vipers gwezannya afuba okugwoota kubutambi oluusi nagula namawulire nasoma ebijifaako mumpapula.
Levixone agamba nti ebimu kubyononye abantu abalina ebitone kwekubulwa empisa oluusi nokubulwa abantu ababakwata kumukono.
Agamba nti kukyokuyimba singa teyali omugenzi Mark Elvis kumukwata kumukono oba olyaawo bangi tebandimutegedde. Kino akyolekezaako nensonga yomuwuwutannyi Waiswa.
Anyumya nti bwotunulira Waiswa gwolabye leero ngazannya y’omu oyo era gwolaba nga omusanze wabweeru w’ekisaawe ekyongera okulaga nti yafuna omutu amubulirira awamu nokumulaga ekubo egolokofu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com