LOODI Meeya Erias Lukwago avudde mu mbeera naatabukira Minisita omubeezi owa Kampala Kabuye Kyofatogabye gwagamba nti ono asusizza amalala saako n’okulowooza nti buli kimu asobola okukimala.
Lukwago ekyamujje mu mbeera ye Minisita Kyofatogabye okutegeeza nga bwagenda okugoba aba boda boda abasinga obungi mu kibuga, musigalemu abo abanaaba batuukirizza ebisanyizo.
Gye buvuddeko Minisita kyofatogabye yategeeza nti alina entekateeka namutayiika gyalina eri aba Boda Boda okusobola okubatebenkeza mu kibuga, naddala abo abanaaba batuukirizza ebisanyizo omuli n’okusasula ensimbi eza buli mwaka, nga abatosobola baakugobwa mbagirawo baddeyo mu byalo.
Kino Lukwago ne ba kkansala be kibuga bangi baakigaanye nga bagamba nti Minisita akola ebintu nga tabebuuzizaako, songa waliwo entekateeka ze yasangawo zatafuddeko yadde okubayita balabe ekyokukola.
“Kyofatogabye tukubuulira ssi gwe asoose okubeera Minisita wa Kampala bangi babaddewo era ne baba namalala nga goolina naye tukugamba byonna bikole naye boda boda ziveeko
Waliwo entekateeka ze wasangawo ze twali tumaze okukolako, era nga abantu baffe abo tulina bwe tugenda okubakwata sso ssi gwe kujja nti ogenda kubagoba bugobi, ekyo tetujja kukikkiriza” Lukwago bwe yagambye.
yayongeddeko nti ayagala okulaba nga buli omu yeyagalira mu kibuga, okusinga okukirekera abantu aboolubatu
kye yagambye nti bulijjo kyalwanirira.
Ye Minisita Kyofatogabye mu kwanukula yagambye nti abakulembeze be Kampala bamusobera kubanga teri ajja mu offiisi ye kwogera ku nsonga yonna, nti wabula boogerera mu nkuubo za City Hall ne yewunya kiki kye batya mu offiisi eya bantu bonna.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com