PULEZIDENTI Yoweri Kaguta Museveni ku lw’okusatu yakoze enkyukakyuka mu ba RDC saako n’okulonda abaggya okugenda mu Disitulikiti ez’enjawulo bamukiikirire, okukwasaganya emirimu egy’enjawulo omuli obutebenkevu saako n’okulondoola emirimu gya Gavumenti.
Mu baalondeddwa mwabaddemu munnamawulire Mike Segawa nga ono ye mutandisi we kitongole kya mawulire ekya watchdog uganda.com era nga ye musunsuzi wa mawulire ow’okuntikko, yasindikiddwa mu kitundu kya Jinja South Division.
Ono era akoledde mu bitongole bya mawulire bingi okuli The Daily Monitor, nga eno yali mumyuka w’omusunsuzi wa mawulire, The Sunrise ne bilala.
Segawa era yakolerako e Jinja nga akulira offiisi ya mawulire ey’ekitongole kya Monitor mu buvanjuba, nga mu ngeri yeemu era mukiseera kino ye kkansala akiikirira abantu ba Kigombya ne Ngandu ku munisipaari ye Mukono.
Mukwogerako naye oluvanyuma lw’okulondebwa Segawa yebazizza omukulembeze we Ggwanga era nasuubiza okukola obutebalira okulaba nga ebigendererwa bya Gavumenti ne nkualakulana mu Jinja eyawamu bigenda mu maaso.
“Ekilungi eno e Busoga nakolerayo kko nga munnamawulire tekijja kumberera kizibu kukwatagana n’abantu baayo emirimu gitambule” Segawa bwe yagambye
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com