OMUYIMBI Ivan Kaye amanyiddwa nga Qute Kaye avudde mu mbeera nawera okutwala mu kkooti abamwogerako nti yazzeemu okukozesa ebilagaralagara eby’omutawana eri obulamu bwa bantu.
Kino kidiridde akatambi akayitingana ku mitimbagano nga nga waliwo omukyala agamba nti Kaye yazzemu okukozesa enjaga, kyagamba nti tajja kukkiriza kumuwayiriza kubanga kati muntu mulala eyakyukira ddala.
Ono eyasangiddwa mu bitundu bye Mukono yagambye nti okuva lwe yawulidde nti waliwo amawulire ag’obulimba agatambula, yafunye amasimu mangi okuva mu mikwano gye, saako ne mu baakola nabo mu kitongole kye yatandikawo ekimanyiddwanga “Another Chance Foundation” ekiri ku ddimu eddene okulaba nga bakyusa abantu abakoseddwa ebilagalalagara nga bonna beewunya wa amawulire gye gava.
“Ndi musajja eyakyuka era njagala kubeera mu mbeera yange saagala kunzijukiza bye nayitamu kubanga tebikyanyamba, omulimu gwe ndiko kati munene nnyo nga singa abantu bengezaako okukyusa bawulira eby’obulimba nga bino ebibadde biyitingana ku mitimbagano tekinkola bulungi nga omuntu”
Maze okulaba ba looya bange bonna era ne mbategeeza ku bigenda mu maaso nga kati tuli beetegefu okuttunka nabuli muntu eyefunyiridde okwonoona elinnya lyange” Kaye eyabadde omunyikaavu bwe yagambye.
Yayongeddeko nti tagenda kuggwamu maanyi kubanga obulwadde obutawanya abantu abakozesa ebilagaralagara bukyali bungi ddala mu Ggwanga ne bweru we Ggwanga, nagamba nti agenda kugenda mu maaso nga ayamba abakoseddwa basobole okuddamu esuubi saako n’okusomesa abaana abakyali mu massomero okubyewalira ddala kubanga byabulabe eri obulamu bwabwe.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com