OMUDDUMIZI wa Poliisi mu Disitulikiti ye Sembabule Ben Mugerwa aweze okukwata era aggalire omuntu yenna anazuulibwa nti yeetaba mu kukuba bannamawulire ku ntandikwa ya wiiki eno.
Bannamawulire okuli Noah Kintu owa BBS TV, Joshua Muwanguzi owa Mbabule FM saako ne Issa Aliga owa NTV baalumbibwa ekibinja ky’abantu abagambibwa okuba abakozi b’omugagga eyategerekekako erya Senkooto lyokka, ne babakuba saaako n’okuwamba kkamera zaabwe zebeyambisa okukola emirimu.
Bano abaasangiddwa ku kitebe ekikulu ekya Poliisi ye Sembabule oluvanyuma lw’okuggulawo omusango baategezezza nti, baafuna amawulire nga bwe waliwo ekibinja kya bantu abaagenze ne bawamba ettaka okuli abantu elisangibwa ku kyalo Kyambogo mu Gombolola ye Bulongo, nti era waali wabaluseewo obutakkaanya wakati wa batuuze n’abantu b’omugagga.
“Amangu ago twakwata ebikozesebwa byaffe mu kusaka amawulire era ne tugenda ku ttaka ely’ogerwako gye twasanga akanyolagano wakati wa batuuze nabagambibwa okuba nti baali bazze okuwamba ettaka
Twagenda mu maaso n’okukwata ebifananyi nga enkola bweri, wabula ekyaddirira kye kibinja kya bavubuka abagambibwa okuba abakozi ba Senkooto ate okutwambalira ne batukuba saako n’okuwamba kkamera zaffe, nga bino bynna byakolebwa mu maaso g’atwala Poliisi ye Ntuusi.
Oluvanyuma twasobola okwemulula ne tuddukira mu bisiko ebirinanyewo nga eno gye twasobola okuwonera naye nga tutuusiddwako ebisago ebyamanyi” bannamawulire bwe baategezezza.
Noah Kintu yagambye nti baagala obw’enkanya bubeerewo era abagambibwa okubatulugunya bakwatibwe bavunanibwe mu mbuga z’amateeka nti kubanga okulinyirira eddembe lya bannamawulire kimenya amateeka.
Wabula DPC Mugerwa bwe yabadde awayamu n’abakulira ekitongole ekilwanirira eddembe lya bannamawulire mu ggwanga ki Human Rights Network for Journalists Uganda (HRNJU) yagambye nti ensonga zino yaziwuliddeko nasaba bannamawulire abagambibwa okuba nti baatulugunyiziddwa okugenda mu offiisi ye okunonyereza kutandike.
“Bwe tunakizuula nti waliwo eyetabye yenna mu kutulugunya bannaMawulire e Ntuusi tugenda kumukwata avunanibwe nga amateeka bwe gagamba” Mugerwa bwe yategezezza.
Bagguddewo omusango gw’okukubwa oguli ku fayiro nnamba, SD. 47/4/03/2022
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com