ABATEGESI be bivvulu mu kibuga kye Mukono bawanda muliro oluvanyuma lw’okukitegeerako nti essawa yonna bagenda kugaanibwa okulanga ebivvulu bya bayimbi nga bakozesa emmotoka ne mizindaalo okwetoloola ekibuga.
Kino kidiridde Sipiika wa Disitulikiti Betty Nakasi okutegeeza akulira abakozi mu Munisipaari ye Mukono saako ne Meeya Erisa Mukasa Nkoyoyo okuwera mbagirawo ebimotoka ebilanga ebivvulu nga agamba nti bino bisusse okumalako bannaMukono emirembe olw’okuwoggana okususse.
Bwe yabadde ayogerako mu lukiiko lwa Munisipaari ku ntandikwa ya wiiki eno Nakasi yakinoganyizza nti abaana bangi mu Mukono bafuuse ba kiggala, nga n’abakadde bangi bongedde okufuna endwadde ya Pulesa nga kino kivudde ku bidongo ebikubibwa okwetoloola ekibuga, byagamba nti bilina okuwerebwa amangu ddala.
Wabula bino olwagudde mu matu g’abategesi be bivvulu ne batabuka ne bategeeza nti embeera eno tebagenda kugikkiriza olw’ensonga nti baakava ku muggalo nga bakyagezaako okweddabulula nabo babeeko kye bassa mu nsawo.
Rasheed Male nga ono yamyuka omwogezi wa bategesi be bivvulu Mu Mukono yagambye nti kino abakulembeze bwe bakikola bajja kuba balaze kyekubiira eri omulimu gwabwe nti kubanga bakyatubidde mu bizibu bingi ebyaleetebwa ekilwadde kya Covid 19 omuli n’amabanja mu ma Banka ag’enjawulo.
“Omulimu guno gw’ayamba nnyo bannabyabufuzi abo nga banoonya akalulu kati bwe baamala okuyitamu ne batukasuka, tetugenda kukkiriza bantu mwe kutulinyako nga mugaana okulanga ebivvulu mu tujja eky’okulya saako n’okusomesa abaana baffe.
Bwe tutalanga kitegeeza abantu tebagenda kujja mu bivvulu, kati emisolo gye mutusaba tugenda kugifuna tutya?” Male bwe yategezezza.
Yayongeddeko nti kino abakulembeze be Mukono bwe banakikola bagenda kusitula abantu bonna abababanja babatwale ku kitebe kya Disitulikiti Sipiika kwatuula saako ne Famire zaabwe abawe eky’okulya.
“Bannaffe bangi batubidde mu mabanja nga kwotadde n’okuba nga ebimu ku by’obugagga byabwe byatwalibwa abatubanja, kati ono Sipiika ate asinziira wa okutulemesa okukola?” Male bwe yayongeddeko
Oluvanyuma lwa Sipiika Nakasi okuleeta ekiteeso ekikugira abategesi be bivvulu okukozesa emmotoka ne mizindaalo ebilanga abayimbi mu kkanso ya Munisipaari ye Mukono, kati kisigalidde eri olukiiko saako n’abekikugu okusalawo ku nsonga eno.
Ku ntandikwa yo mwaka guno Pulezidenti Museveni yagyawo omugalo ku buli kintu omwali ne bivvulu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com