OMUKULEMBEZE we kisinde kya The National Economic Empowerment Dialogue (NEED) Joseph Kabuleta Kizza agamba nti ekitundu kya Bunyoro kye kimu kwebyo ebisinga obwavu kyokka nga kyazuulibwamu amafuta emyaka 20 egiyise.
Bino yabyogedde ku lw’okubiri bwe yabadde ayogerako n’anbakulembeze mu kitundu kye Bunyoro mu lukiiko olwatudde mu Kibuga kye Hoima.
Ono yategezezza nti okuva amafuta lwe gazuulibwa mu kitundu kino, abantu baayo baava mu kuba nti baavu ne bafuukira ddala bankuseere, olw’ensonga nti Gavumenti tefuddeyo kuleeta nkulakulana mu bantu ba wansi.
“Amafuta gazuulibwa mu Bunyoro emyaka 20 egiyise era nga Gavumenti yatandika okutunda amafuta agatali masengejje emyaka gyonna nga bannaUganda tebamanyi, era ku mwe abantu be Bunyoro tekuli yadde alina ttaka muli luzzi lwa mafuta yadde.
Abagezigezi abali mu Gavumenti bajja mangu ne babagulako ebitundu byamwe ku layisi ne babitwala era nga kati be babituddeko, ekyo nno kyandibadde awo naye ne babaako bye bayamba okuddabulula ekitundu nga amassomero ag’omulembe saako n’amalwaliro naye byonna tebalina kye bakozeeko” Kabuleta bwe yagambye.
Yagambye nti Gavumenti kyesinga okutegeeza Abanyoro kwe kuba nti bazimbye enguudo mu kitundu, nagamba nti zino tewali we bazifuniramu okujjako okuyamba abali mu Gavumenti okutambuza omunyago gwabwe.
Ono nga yesimbawo kko mu kulonda kwobwaPulezidenti omwaka oguwedde natayitamu yanenyezza Gavumenti olw’okukotoggera abantu bannaUganda saako n’okubabigika emisolo emingi nga kuno kwogasse okutwala ne by’obugagga byabwe kyagamba nti kye kisinze okuzza e Ggwanga emabega.
“Gloria Kabasinguzi, nga ono yoomu ku beetabye mu lukungaana luno yagambye nti, ekyamazima abantu be Bunyoro tebanafuna mu Mafuta agaazuulibwa mu kitundu kyabwe, nagamba nti obwavu bukyabali bubi olw’ensonga nti Gavumenti tefuddeyo kutekawo mbeera yakukulakulanya kitundu kino.
“ Okugeza tulina amafuta naye abaana baffe tebalina mirimu wabula baleeta bantu kuva bweru wa Ggwanga ne babawa emirimu egyandikoleddwa abaana baffe.
Tulina amalwaliro n’amassomero agali mu mbeera embi ennyo, ekyamazima tewali kye tufunye mu mafuta gaffe” Kabasinguzi bwe yategezezza abaabadde mu lukiiko.
Ekisinde kya NEED kati kigenda kizingako e Gwanga lyonna nga kisomesa abantu butya bwe bayinza okukozesa eby’obugagga ebili mu bitundu gye bawangaalira nga mu kiseera kino kimaze okusalako ebitundu omuli, Busoga, Buganda, Bugisu, Bukedi, Teso, Sebei, Lango, Acholi, West Nile,Tooro, Rwenzori, Kigezi , Ankole ne Bunyoro
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com