GAVUMENTI evuddeyo n’edduukirira abantu abaakosebwa omuyaga gye buvuddeko mu gombolola ye Kyera e Sembabule.
Omuyaga gw’ayonoona emmere ya bantu saako n’amayumba ku byalo eby’enjawulo okuli, Lwembwera, Kaalo kalungi, Kinoni, Makoomi ne Lubaare.
Obuyambi buno bwavudde mu offiisi ya SsabaMinisita era nga bwasabwa Omubaka omukyala akiikirira Disitulikiti ye Sembabule Omusumba Mary Begumisa oluvanyuma lw’okulambula abatuuze ne bamukaabira ennaku gye baali bayitamu olw’enjega eyabagwamu.
Bwe yabadde akwasa abatuuze n’abakulembeze be Gombolola ye Kyera emmere saako ne nsigo bye yabasakidde, Begumisa yagambye nti ebintu byonna bilina kufunibwako abantu abo bokka abaakosebwa omuyaga saako naabo abatalina mwasirizi nakuutira abakulembeze okukozesa obwesimbu n’amazima wakati mu mulimu ogwo.
Yagambye nti ne bintu ebilala bye baasaba okuli amabaati saako ne zi bulangiti abakulu mu offiisi ya SabaMinisita nabyo baamutegezezza nti bagenda kubikolako amangu ddala.
Yabajjukizza nti Gavumenti ya NRM ebafaako era ebaagala n’olwekyo ye nsonga lwaki bwe yekubira omulanga gyeli abakulu baasobodde okusitukiramu ne basobola okubafunira obuyambi.
Yasabye bakulembeze banne okwongera okukolera awamu, kye yagambye nti kijja kumwanguyiza emirimu saako ne Gavumenti okuwulira amangu eddoboozi lyabwe esobole okukola ku nsonga zaabwe.
Abatuuze baasiimye Omubaka Begumisa saako ne Gavumenti okuvaayo ne babaddukirira ne beeyama okubongera obuwagizi.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com