OMUKULEMBEZE we kisinde kya The National Economic Empowerment Dialogue (NEED) Joseph Kabuleta akubye ab’eRwezori akaama nabategeeza nti tebageza okutunda e ttakka lyabwe, kubanga lijja kubayamba nnyo nga Gavumenti ya NRM eliko kati evudde mu buyinza.
Ono agamba nti bano tebageza okukemebwa ne buzabuzibwa bannakigwanyizi okutunda ettaka lyabwe kyagamba nti kye kyobugagga kyokka kye balina ekiyinza okubayamba okwejja mu bwavu gye bujja nga Pulezidenti Museveni gwe yayogeddeko nga atabagalangako avudde mu buyinza.
Ono era nga yesimbawo kko ku kifo ky’obukulembeze bwe Ggwanga mu kulonda okuwedde okwogera bino yabadde Kasese ku mande bwe yabadde asisinkanye abatuuze n’abakulembeze mu kitundu kye Rwenzori mu kawefube gwalimu okusobola okuzzamu amaanyi abantu bonna abaagwa mu kalulu akawedde saako n’otegeeza abatuuze butya bwe basobola okulwaniriramu eby’obugagga ebisangibwa mu bitundu gye bawangalira.
Yabategezezza nti ekimu ku bizibu Gavumenti eri mu buyinza byeretedde bannaUganda kwe kubadyeka dyeka ne batunda ettaka lyabwe olwo ne badda mu kugula boda boda ze yayogeddeko nti tezirina kye zisobola kubayamba kwejja mu bwavu okujjako okutwala sente zonna era ne basigala nga baavu lunkupe.
“Mbegayiridde temutunda ttaka lyamwe mulikuume kubanga gye bujja lijja kubayamba nnyo naddala nga muwulirizza byembagamba, obwavu ne bwe bukuluma butya mugume temwejjako kyabugagga kyammwe ekyensikirano” Kabuleta bwe yategezezza abaabadde mu lukungaana e Kasese.
Ono era yabategezezza nti ennaku zino Gavumenti yefunyiridde okulowozesa abantu nti elina kubawa sente okwekulakulanya kyagamba nti kino kikyamu bannaUganda tebeetaga kuwebwa beetaaga kukendeeza ku misolo egibanyiga, okubafunira obutale bwe byamaguzi byabwe, enguudo ennungi ne bilala sso ssi nsimbi nkalu.
Yabajjukizza nti okuva Pulezidenti Museveni bwe yajjawo ebibiina by’obwagassi ebyali bibayamba okubagulako ebyamaguzi byabwe naddala ebirime saako n’okubawola ku nsimbi ne basobola okusomesa abaana babwe n’okubayamba mu bizibu ebilala, e ggwanga lyadda emabega.
Yanenyezza Gavumenti okujjawo enkolagana ne kitongole kyemwaanyi kye yagambye nti kino kigenda kukosa eby’enfuna bye ggwamnga naddala abalimi.
Meeya we Bundibugyo Hassan Baguma yasiimye ekisinde kya NEED okubunyisa enjiri etakabanira enkulakulana, kye yagambye nti kino kizibudde abantu bangi amaaso okumanya ebigenda mu maaso mu ggwanga saako n’okuzzamu bannaUganda amaanyi mu bitundu gye bawangalira.
Mu kiseera kino Kabuleta ne kisinde kya NEED bamaze okuzingako ebitundu ebisinga mu Ggwanga era nga muno mulimu Busoga, Buganda, Bugisu, Bukedi, Teso, Sebei, Lango, Acholi, West Nile, Tooro ne Rwenzori
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com