OMUBAKA omukyala owa Disitulikiti ye Sembabule Omusumba Mary Begumisa ataddewo emmotoka nga eno egenda kutambulanga okwetoloola Sembabule yonna nga ekola nga offiisi ye, okusobola okutuusa obuwereza ku bantu ba wansi.
Begumisa agamba nti kituufu alina offiisi y’omubaka mu kitundu kyakiikirira, nti kyokka abantu bangi tebasobola kujja kumusisinkanayo olw’engendo empanvu saako n’entambula ey’obuseere nga kino kye kyamuguzisizza emmotoka egenda okukola nga offiisi etambula (Mobile Office) saako n’abayambi be okusobola okutuukira ddala ku bantu ba wansi.
“Sembabule nga Disitulikiti elina amagombolola 17 ate nga agamu geesudde walako nga kino nakilaba nti kyetaagisa okufuna antambula nsobole okugenda okusisinkana abantu bange, mpulirize ebizibu byabwe nga sipapa, eby’etaagisa okukolako mbikoleleko eyo, n’ebyetaaga okutwala mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu nabyo mbimanye era mbyetikke mpaka Kampala gye bantuma.
Mbadde nfuna amasimu mangi nga abantu baffe balina ebizibu eby’enjawulo, kyokka bambi nga ebimu ssi byamaanyi nsobola okubyekolerako awatali kulinda Gavumenti, nsuubira emmotoka eno egenda kunyamba nnyo kubanga buli kimu ekirina” Begumisa bwe yategezezza.
Yagambye nti agenda kuwangayo obudde bwe nga tapapa, kubanga emmotoka eno elina ekifo wasobola okutuula n’abantu abatonotono ate nga bwetambula, okusobola okuwuliriza ensonga zaabwe ne bwe ziba z’akyama, elimu obuliri wasobola okwebaka singa obudde buba bumuzibyeko nga ali mu magombolola agesudde amakaage, ate enkeera natandikira awo okutalaaga ebitundu ebilala.
E mmotoka eno era elina ekifo awakyamirwa saako n’ekinaabiro nga abantu ne bwe baba mu lukiiko ensonga zonna ez’emmanju zikolwako awatali kuyimirira.
Elina amataala agakozesa amaanyi ge njuba nga gano gakubira ddala wala nga ne bwe buba kiro esigala etambula n’asisinkana abantu bakiikirira awatali kwekengera kwonna, ekifo awategekebwa emmere nakyo mwekiri, abantu we basobola okufuna eky’okunywa ekinyogoga obulungi saako ne kifo awatuuzibwa enkiiko ekibikke nga osobola n’okuteekawo entebbe abantu kwe batuula wabweru awatali kutataganyizibwa.
Yanyonyodde nti ne bwanaaba nga taliiwo emirimu gye Ggwanga nga gimuli bubi agenda kutumanga abayambi be bakungaanye ebilowoozo bya bannaSembabule nga bakozesa offiisi ye eno etambula, oluvanyuma bwanakomangawo nga asala amagezi okulaba ensonga zonna bwe zikolwako amangu ddala.
Abantu be Sembabule baasanyukidde enkola eno gye bagamba nti elabika yesoose mu ggwanga lyonna era nga basuubira nti ebizibu byabwe byakukolwako engeri omubaka gyasazeewo okubawa obudde obuwerako okwogera nabo nga basinziira mu bitundu gye bawangalira
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com