KKOOTI ya maggye e Makindye kyadaaki eyimbudde omupoliisi Nixon Agasirwe ku kakalu kaayo oluvanyuma lw’okumala emyaka 4 mu nkomyo.
Agasirwe ono nga ye yali akulira ebikwekweto eby’enjawulo mu kitongole kya Poliisi ye Ggwanga yakwatibwa mu mwaka gwa 2018 nasibibwa mu kkomera lya maggye e Makindye.
Ono nga era yali wa kulusegere nnyo ne yali akulira Pliisi mu kiseera ekyo Gen. Kale Kayihura emirundi mingi abantu be babadde bagezaako okumweyimirira nga bigaana okutuusa ku mande akulira kkooti ya amaggye Lt. Gen. Andrew Gutti bwe yakkirizza ayimbulwe.
“Nzikirizza okukuyimbula ku kakalu ka kkooti naye olina okukolagana ne bilagiro ebikutereddwako obutabimenya, era bwe kinazuulibwa nti olina by’omenye ajja kuddamu okukwatibwa.
Tolina kutambula kusukka Kampala na Wakiso, olina okujja okweyanjula mu kkooti emirundi 2 buli mwezi, olina okusasula ensimbi obukadde 30 ezitali za buliwo, ate abakweyimiridde basasule ensimbi obukadde 50 nazo nga ssi zabuliwo” Gutti bwe yategezezza.
Yayongeddeko nti Agasirwe alina okuleeta ebitambuliso bye bynna mu kkooti ya maggye, nga kino kitegeeza nti takkirizibwa kutambula kufuluma ggwanga.
Abamweyimiridde kuliko mugandawe Aloysias Muhangi ne Labana Muhabwe omupoliisi eyawummula.
Avunanibwa emisango okuli okuwamba n’okuzaayo munnansi wa Rwanda Lt. Joel Mutabazi nga ono yali mukuumi wa Pulezidenti Paul Kagame mu 2013, saako ne Jackson Kalemeera nga naye yaddizibwayo e Rwanda munkukutu ekikontana n’amateeka agafuga eby’okwerinda mu ggwanga.
Ono era avunanibwa n’eyali Ssabapoliisi we Ggwanga Gen Kale Kayihura, Col. Ndahura Atwooki, Herbert Muhangi eyali akulira ekitongole kya Flying Squard, Patrick Muramira, Jonas Ayebaza, Joel Aguma, James Magada, Benon Atwebembeire, Abel Tumukunde ne Faisal Katende.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com