GODFREY Byamukama Meeya we Kamwenge eyatulugunyizibwa ab’ebyokwerinda nga bamutebereza okuba ne kakwate ku by’okutemulwa kweyali omwogezi wa Poliisi Andrew Felix Kaweesi agenda kusasulwa ensimbi akawumbi 1 mu obukadde 400 okuva mu kitongole kya Poliisi olw’obuvune bwe yatuusibwako nga ali mu kkomera.
Eno ye nzikanyagana gye yatuuseeko n’abakungu ba Poliisi ye Ggwanga aleme kweyongerayo n’amisango mu kkooti kubanga abatwala eby’amateeka mu Poliisi baakirabye nga kyabuntu okusooka okukkanya ne batasasula nsimbi mpitirivu.
Kinajjukirwa nti mu 2017 Byamukama yali azze mu Kampala okubaako emirimu gyakola yakwatibwa era nasibwa mu kkomera e Nalufeenya nga ab’ebyokwerinda balumiriza nti yali alina byamanyi ku kutemulwa kwa Kaweesi.
Eno yakubibwa byansusso era naafuna obuvune obwamaanyi ekyamuviirako okwagala okufiira mu kkomera, ekyaddirira be beby’okwerinda okumutwala mu ddwaliro ne basuula eyo, abenganda ze gye baamusanga.
Bano baamukuba ebifananyi era ne babitambuza ku mitimbagano nga yenna amagulu gaavunda ekyaletawo ebigambo ebingi, saako n’abatuuze okwogerera Poliisi abigambo ebikaawa.
Kino kyaviirako abasilikale ba Poliisi okuli D/ASP Patrick Muramira, D/ASP Fred Tumuhairwe, Habib Roma ne Ben Odeke okukwatibwa era ne basimbibwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ya Buganda Buganda era ne basomerwa emisango gy’okutulugunya omuntu kyokka nga oluvanyuma bateebwaku kakalu ka kkooti.
Bwabadde ayogerako eri abakulira abadumizi ba poliisi ez’enjawulo mu Ggwanga, akulira eby’eddembe ly’obuntu n’amateeka mu kitongole kya Poliisi ye Ggwanga AIGP Erasmus Twaruhukwa ategezezza nti oluvanyuma lwa Gavumenti okuwawabirwa ku by’okutulugunya Byamukama mu kkooti era ne kizuulibwa nti ddala waaliwo obujulizi obulumira ddala ekitongole kya Poliisi, baasalawo okudda ebbali bateese ne Byamukama ensonga ziggwe.
“Twagenda okukyetegereza nga singa omusango gugenda mu maaso Gavumenyti yali eyinza okufiirwa obuwumbi obusukka mu 8 nga byamukama bwe yali asabye nga ayagala aliyirirwe olwokutulugunyizibwa obwemage, kubanga yali ayinza okuwangula omusango ogwo”
Bwe twadda ebweru wa kkooti twakkanya asasulwe ensimbi ezo omusango guleme kugenda mu maaso, Basilikale banange mwewale okutyoboola eddembe ly’obuntu saako n’okweyisa mu ngeri etulugunya abantu abatalina misango, kubanga ebikolwa ebyo bijja kuviirako Gavumenti okufuna ekifananyi ekibi mu bantu saako n’okufiirwa ensimbi empitirivu mu misango” Twaruhukwa bwe yagambye
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com