MUNNA kisinde kya The National Economic Empowerment Dialogue (NEED) Joseph Kabuleta alabudde Abacholi okukomya okutiririra Gavumenti eri mu buyinza, nagamba nti bwe baba baagala okukomya obubbi bwe nte zaabwe saako n’okunyagibwako ettaka balina okulwana bwezizingirire okwetasaako Gavumenti ya NRM.
Ono agamba nti Abacholi balina era n’okwegendereza abantu abamanyiddwa nga Abalaaro ababasenga gye buvuddeko be yayogeddeko nti bano berimbika mu kulunda ente kyokka nga ekigendererwa kyabwe ekituufu baagala kunyaga mafuta agali mu kitundu kino.
“Mukimanye nti gye buvuddeko ekintundu kyammwe kino kyazuulibwamu amafuta ekitongole kya French oil and gas company- Total SA, era nga ssawa yonna gagenda kusimibwa, wabula mulina okumanya nti gano amafuta nammwe gabakwatako kubanga kino ekitundu kyammwe mulina okufuna kyenkanyi ku by’obugagga ebikilimu n’olwekyo temulina kwebaka” Kabuleta bwe yagambye.
Okwogera bino yabadde asisinkanye abakulembeze mu kitundu kya Acholi omuli zi Disitulikiti 7 Agago, Amuru, Gulu, Kitgum, Lamwo, Pader ne Omoro ku Monday mu kawefube gwalimu agendereddwamu okuzzaamu abakulembeze amaanyi saako naabo abawangulwa mu kalulu.
Yagambye nti abantu abayitibwa Abalaaro baagala nnyo okwesenza mu bitundu omuli eby’obugagga naddala amafuta, nti era bagenda mu maaso ne bafuna ettaka ku busente obutono ennyo, naye nga ekigendererwa kuba kwekomya byabugagga ebyo ne bitayamba baana nzaalwa za mu kitundu.
“Wano mwakiraba ewaffe mu Bunyoro mu kiseera ekitono ennyo Abalaaro baali baamaze dda okutuzindea kasita bawulira nti waali wazuuliddwayo amafuna, bano bajja ne mmundu ne sente ne batandika okugula ettaka era nga mu ngeri yeemu ne wammwe wano bwe bakoze kale mulina okwegendereza” Kabuleta bwe yagambye.
Yasabye Abacholi okufuba ennyo okulaba nga beyambula Gavumenti eri mu buyinza bwe baba nga ddala baagala okufuna mu by’obugagga ebili mu kitundu kyabwe.
Era yatadde Gavumenti ku nninga eveeyo etandike okuwa abantu ba Acholi ebyapa ku ttaka lyabwe kubanga kino kye kimu ku bilaga obwannanyini obwenkomeredde ku ttaka, nga bwe kitaba ekyo Abacholi tebagenda kufuna nkulakulana byonna bigenda kutwalibwa Balaaro Amafuta ne ttaka.
Mu lukungaana luno abatuuze baakabidde Kabuleta amaziga nga bamulaga butya Abajaasi abaamanyi bwe beenyigidde mu kuyambako babanyagako ente zaabwe.
“Tulina abajaasi mu disitulikiti okuli Kabong ne Kotido nga bano bakola kinene okuyambako ababbi be Nte okutubbako ebisolo byaffe, kino tetumanyi bwe tuanakikola kubanga jetwandiddukidde ate bebayamba ababbi” Aabatuuze bwe baategezezza Kabuleta
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com