Bishop Ssebaggala alaze obutali bumatiivu eri abakulembeze mu kibuga kye Mukono obutavaayo kuyimirira n’abantu baabwe mu biseera ebizibu kyokka ne basalawo ku basaba bululu bwokka.
Kino kiddiridde ,Kitaffe mu Katonda James William Ssebaggala ne Kitongole kya Kabaka Foundation okukulemberamu omulanga gwa Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi okugaba omusaayi nga abantu bangi bafa mu Ggwanga olw’okubulwa omusaayi mu malwaliro.
Okwogera bino abadde ku ddwaliro lya Mukono Church of Uganda Hospital kyokka nga bannabyabufuzi mu kibuga kino tebalabiseko ng’omulabirizi ayaniriziddwa Omwami wa Kabaka ow’essazza lye Kyaggwe ,Ssalongo Elijah Bogere mulembya ng’omukolo gw’etabiddwako Dean wa Lutiiko Rev Enosi Kitto Kagodo, Vicar Rev. Edward Muyomba, Omuwanika w’Obulabirizi Ord Rogger’s Kityo n’abantu ba bulijjo.
Bw’abadde ayogerako eri abantu ba Katonda Bishop Ssebaggala ategezeza nti kinakuwaza nnyo mu biseera eby’obuzibu nga abakulembeze tebalabikako kuyimirira n’abantu baabwe, kyokka bbo ne basalawo kubasaba bululu bwokka mu biseera by’okulonda kyagambye nti ssi kilungi.
Mu ngeri y’emu era asabye abavubuka bonna mu bulabirizi okusitukiramu okutaasa e Ggwanga olw’ebbula ly’omusaayi awatali kwebulankanya munsonga eno.
Wabula ye Owek.Kagwa Eddie Ndagala nga ye Ssenkulu w’ekitongole kya Kabaka Foundation mu Bwakabaka bwa Buganda agambye nti abantu abasinga obungi bafa nga tebalina musaayi naddala aba Boda Boda n’asaba abakulembeze okukubiriza abalala okugaba omusaayi basobole okugutereka guyambe abalwadde.
Ssenkulu w’eterekero ly’omusaayi mu Ggwanga Dr. Dorothy Kyeyune Byabazaire alaze obwetaavu bw’okugaba omusaayi nti kubanga mu malawliro agasinga tegalina musaayi nga omulwadde olutusibwayo abasawo banoonya munoonye olumu ekiviirako abangi okufa nga tebandifudde.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com