MINISITA we nsonga z’omunda mu Ggwanga Gen. Kahinda Otafiire alabudde Amaggye ge Ggwanga ne Poliisi okukomya okutulugunya abantu, nagamba nti bino tebikoma kuvumaganyisa Gavumenti ebweru wa Uganda, wabula bitta ne kifananyi ky’abantu abagenda mu nsiko okulwana okujjako bannakyemalira.
“Emirundi mingi poliisi n’amaggye bilabiddwa nga bitulugunya saako n’okukuba abantu emiggo, ekintu ekitali kilungi era tetugenda kikikkiriza kugenda mu maaso kubanga ebyo bye nnyini bye twalwanyisa obutaddamu kulabika”
Singa bigenda mu maaso olwo kitegeeza nti okulafubana kwaffe bwe twali mu nsiko kwafiira bwerere” Otafiire bwe yagambye.
Okwogera bino yabadde Mbale nga awayo amassomero n’amalwaliro agazimbiddwa Eggye lya UPDF nga bajaguza olunaku lwe bayingira ensiko okulwanyisa Gavumenti ya Obote eyali mu buyinza ekiseera ekyo nga balutuuma Tarehe sita.
Yayongeddeko nti ebikolwa bino babikooye nga abalwanyi kubanga bye byo byenyini bye baalwanyisa, nagamba nti naye bakizudde nti bikolebwa abantu sekinoomu abaagala okuyisaawo ebyabwe kye batagenda kuddamu kukkiriza.
Yagambye nti ne bbago eligenda mu maaso eliluubirirwa okuwa Ababaka bokka omukisa okulonda Pulezidenti tebagenda kulikkiriza, era tebalyagalira ddala kubanga lijjawo eddembe lya bannaUganda okukola okwesalirawo ku mukulembeze wabwe gwe baagala ekitali kilungi.
“Kino nakyo kilinga ekyagala okufuula olutalo lwe twalwanira emyaka 5 okuba nti telwalina makulu yadde” Otafiire bwe yayongeddeko.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com