NAMUKADDE Eneriko Kayizzi ow’emyaka 104, nga mutuuze ku kyalo Lutengo B mu Gombolola ye Namu e Mukono Mu kiseera kino gakaaba gaakomba oluvanyuma lw’agambibwa okuba nanyini ttaka okwagala okumugoba ku kibanja kwamaze emyaka egisoba mu 100.
Kayizzi agamba ekibanja kino ekiweza yiika 8 kwe yazaalibwa era yakifuna okuva ku bazadde be nga nabo baaziikibwa omwo emyaka 80 emabega.
Ono eyasangiddwa ku kkooti enkulu etuula e Mukono era nga munafu nnyo, yalaze obutali bumativu eri Hajji Muhammad Lukanga Kanakulya gwagamba nti ono yatuuka n’okumukoonera ennyumba ye gye yali yazimba mu kibanja kino, ne kyaddirira kubunda bunda, nga mu kiseera kino asuzibwa bawala be.
Yategezezza nti embeera bwe yayongera okumutabukira yaddukira mu offiisi y’omukulembeze we Ggwanga ekola ku nsonga ze ttaka, abajja e Mukono ne bakola okunonyereza era ne bakizuula nga ddala agobaganyizibwa mu bukyamu, ne basalawo adde ku kibanja kye olwo amateeka agafuga eby’ettaka gaddemu gagobererwe.
Okusinziira ku kiwandiiko ekyakolebwa omumyuka w’omuwandiisi ow’ekyama owa Pulezidenti Edward Sunday Ochieng nga 19. 11. 2021, era nga kyawebwakop Minisita avunanyizibwa ku nsonga z’obwaPulezidenti, Omubaka wa Pulezidenti e Mukono nabalala kyalaga nti Kayizzi yagobebwa mu bukyamu okuva ku kibanja kye, ekiri ku bbulooka 169 ne poloti 149 ne 150 ku kyalo Lutengo B, era ne balagira kimuddizibwe amangu ddala.
“Ndi mwenyamivu offiisi y’omukulembeze we Ggwanga okusalawo mu mazima banzirize ekibanja kyange kyokka ate Kanakulya nantwala mu kkooti,
Baana bange ndi musajja muakadde ate omulwadde atakyesobola kwewuba mu kkooti buli kadde, kyova olaba nga bazzukulu bange bankwatilira bukwatirizi okundeeta wano.
Ekirungi Omulamuzi abalagidde obutanzizza okutuusa nga anetaaze, naye nsaba Pulezidenti annyambe nga abaana be yasindika bwe baali bakikoze mpebwe ekibanja kyange.
Jane Nalwoga nga ye Muwala wa kayizzi yategezezza nti Hajji Kanakulya yabatuukirira mu mwaka gwa 2013 nabategeeza ng abwe yali yagiula ettaka lino, era nabasaba akakadde kamu n’ekitundu okw’egula era ne bazimuwa kyokka oluvanyuma y’ekyusa.
Ye Hajji Kanakulya bwatuukiriddwa ku nsonga zino agambye nti ayagala bwenkanya kubanga ettaka lilye ye nsonga lwaki yagenda mu mbuga z’amateeka
Omuwandiisi wa kkooti enkulu etuula e Mukono Mary Ikiti alaze ennaku z’omwezi 28 June nga lwagenda okuwa ensala ye ku musango guno
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com